Olw’okweyongera kw’obwetavu bw’enva endirwa naddala eza kiragala ku katale k’ensi yonna, wabaddewo obwetavu bwokwongera ku makungula mu balimi.
Engeri gy’ekiri nti enva endirwa eza Broccoli zirimu ekirungo kya vitamini , ebirungo eby’enjawulo mpozzi n’ebikendeeza obutwa mu mubiri. zIkola nnyo ku ndwadde nga sukaali, n’okuziyiza endwadde z’omutima. Omulimu gw’okulima enva endirwa zino kuzza amagoba mangi ate era oteekamu kitono.
ENDABIRIRA Y’EKIRIME
Okusinzira nti kirimibwa mu budde buwewevu mu ttaka omuli nakavundira, ettaka erisinga okusimbibwamu ekirime kino lirina okuba eryolusenyusenyu n’erya bbumba eriddugavu nga lirina olunnyo lw’ettaka oluli wakati wa 5.8 ne 6.5 omuli ebigimusa by’obutonde n’amazzi agamala. Simbuliza endokwa mu nnaku 30 oluvanyuma lw’okusiga mu mabanga ga 42/45*16/30cm mu mmerezo ey’obugazi bwa 92cm.
Mu ngeri y’emu, fukirira endokwa okumala essaawa eziwera nga tonaaba kusimbuliza era ozifukirire amangu ddala nga wakamaliriza okusimbuliza okusinzira nti enva endirwa eza broccoli zikulira nnyo mu ttaka egimu,kozesa ekigimusa ekya NPK, n’ekirungo kya lime okusobola okukuuma olunyo lw’ettaka kisobozese ekimera okukula obulungi.
Enva endirwa eza broccoli kirime eky’emirandira ekimpi era olina okukifuyira ennyo era oteekewo enkola okukasa nti amazzi gamala naddala mu budde bw’enkuba. Genda mu maaso nga oggyamu omuddo ogwonoona ebirime amangu ddala okusobola okwongera ku makungula. Kino kikolebwa nga weyambisa eddagala erifuuyira ebirime, n’okukozesa ebyuma ebiggyamu omuddo ogwonoona ebirime.
Okwongerezaako, kozesa enkola ennungi ey’okusimba ebirime eby’enjawulo buli lusimba, kungula ekibala ng’okisala busazi wansi w’enduli era weyongera okukisala okutuusa ng’embeera y’obudde efuuse ya bbugumu nnyo oba ya bunyogovu nnyo nga tekikyasoboka ku kungula.