Okulima enva endirwa mu bukutiya kikuwa amakungula amangi nga okozeseza amaanyi n‘obudde butono, kyekimu ku bivaamu ensimbi eri abalimi, enva ezenjawulo zisobola okulimibwa mu kutiya emu ate nga kisoboka ku nkuba ne ku musana.
Waliwo ebikozesebwa ebyenjawulo ebyetagiisa era nga mulimu; amayinja, ettaka, evu ly‘obukutta obussa oba kalimbwe. Amayinja gayamba ettaka obutaguba wamu n‘amazzi okutambula obulungiate nga amabanda gakekereza ku mazzi kubanga gaziyiza okutonya wamu nokufumuuka ekikuuma ettaka nga bisi okumala olunaku lumu oba bbiri.Kyusakyusa byolimira mu kutiya okwewala okutambuza obulwadde era ekutiya enkadde ozikyuse
Enima y‘enva endirwa mu kutiya
Okusooka teeka amayinja wansi mu kakutiya kuba kiyamba ku kutambuuza amazzi era nokufuula ettaka ekunkumufu bwomala otabule ettaka, evu n‘obusa bulungi. Kuno ozaako kuteeka bisubi bikalu ku mayinja olwo noteeka ettaka eritabuddwa mu bukutiya naye tokattira.
Okweyongerayo, kuba obutuli nga bweyawudde 10cm ku mabanda mu ngeri ya zigizaga okusobozesa amazzi okutambula obulungi okutobya ettakaolwo amabanda ogateke wakati 10cm okuva wansi okuziyiza amazzi okuyitamu obuyisi.
Osimba kungulu ne mumbirizi mwekutiya , olwo ozaako kufikirira nga oyiwa amazzi okuva mu bakuli buli ku makya, wabula ku ntandikwa amazzi gayiwe ku bimera ne mu mabanda okuyamba okukola emirandira emirungi.
Mu kusembayo, nga enva zimeze neziwanvuwa, akakutiya okusaikamu noyongeramu ettaka era simabmu ebikolo 4-5 mu buli kutiya bisobole okuba n‘amabanga agamalaokusobola okukula obulungi, bwoba ebisimbuliza nga bikulu ebikoola bisaleko okusobola okuguma.