Entungo erimibwa abalimi bangi mu bintu ebikalu engeri ekimera kino gyekigumira ekyeeya kasita ogatamu ebiriisa ebirala ebyetagiisa okukuza ebisolo.
Okweyongerayo entungo erimu butto ebitundu 40-50%, emmere ezimba omubiri ebitundu 25% , vitamini n‘eminnyo nolwekyo erina ebirungi eri obulamu bingi kubanga butto avaamu akozesebwa mu kukola amaddagala, ebikandibwa, ne kampuni z‘ebizigo. Okufuna amakungula mangi simba ekika ekituufu mu budde obutuufu. Kirina okumanyibwa nti buli kika kya ntungo kiringa obungi bwa butto bwakyo nolwekyo okubirizibwa okulima ebika ebikuwa amakungula amangi buli hactare.
Ebikolebwa ebituufu
Tandiika na kulonda kifo nga kikulukusa amazzi bulungi nga kya musenyusenyu engeri ettaka bwerityo gyerikuuma oluzzizzi wabula wolonda walina okuba nga musetwe engeri entungo gyetabala bulungi ku ttaka eritali tereevu/eryebifunvufunvu.
Ekyokubiri olina kusiimba nga enkuba egwaayo engeri entungo gyetetaaga mazzi mangi okukula, era tekateka enimiro bulungi okwewala omuddo okumeruka amangu era bwoba ogenda kutabikamu ebirime ebirala, kola amabanga ga 75cm.
Okugattako koola nga torekera okumala wiiki 4 nga omaze okusiimba okukendeeza ku kulwanira ebiriisa, kendeeza ku bikolo bu kinnya okusobola okusigaz omuwendo gw‘ebimera ebisaniide era bwoba omansa bumansa tabula ensingo mu musenyu okukakasa nti zibeera z‘amabanga agasaniide.
Kakasa nti osiimba kilo 4 ku 5 buli hactare era otekemu ebigimusa bya urea ne NPK okwongera ku nkula gyebikulamu, nekisembayo lwanyisa ebiwuka nga okozesa eddagala ly‘ebiwuka okwewala okufirwa entungo kuba erumbibwa nnyo ebiwuka.