»Engeri y‘okulima sserale(celery) okuva mu nsigo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=Oor0qXw6Qn0

Ebbanga: 

00:05:30

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Asian garden 2 table
»Please subscribe to our channel or visit our website at https://asiangarden2table.com​Tulina bye tulonzeeko eby‘amaanyi mu nva endiirwa ezitundibwa okuva ku ssemazinga wa Asia. Weebale nnyo obuwagizi bwo.«

Sserale nva ndiirwa ezikulira mu budde obuweweevu, mu kisiikirize era ezigumira ebbugumu, ezimanyiddwa olw‘enseke zaazo ezirimu omubisi era ezitawaanyizibwa endwadde entono era tezeetaaga ndabirira yaamaanyi. Wabula, ebbugumu bwe lyeyongera kikendeeza omutindo.

Okulima sserale kwetaagisa emitendera emyangungu era bulijjo sserale alimiddwa awaka awooma nnyo era alabika bulungi. Ensigo za sserale zimerera wakati wa wiiki ebbiri n‘omwezi, noolwekyo tandika n‘ensigo mu bbanga lya myezi ng‘ebiri n‘ekitundu nga okusiga tekunnatuuka, engeri gye kiri nti akula mpola. Okusiga kulina okukolebwa mu kwewala omusana anti kino kireetera okuwanvuwako okw‘enduli. Okusimbuliza kulina okukolebwa nga sserale awezezza wiiki nnya.

Emitendera

Nnyika ensigo okumala essaawa kkumi na bbiri, zizinge mu kipapula, zifunyize mu kaveera era oziteeke mu ffiriigi okumala essaawa abiri mu nnya okusisimula okumera.

Siga ensigo mu ttaka eriteekeddwa mu bisuwa oba emikebe mw‘ogenda era okuume ettaka nga bbisi engeri gye kiri nti ensigo zirwawo okumera.

Yawula endokwa era oteeke buli kimera mu kasenge akasimbibwamu akeeyawudde.

Bikka emirandira nga okozesa ettaka eritabuddwa erigenda okusigibwamu era bulijjo fukirira endokwa okukula obulungi.

Simba sserale mu kitundu kya ffuuti okuva ku mulala engeri gye kiri nti okusimba nga omuliraanaganyizza kivaamu enduli enkwafu ate ennyimpi.

Oluvannyuma lw‘okusimbuliza mu bujjuvu fukirira olw‘okukula obulungi.

Teekamu ebintu eby‘obutonde era oyongerezeeko ebigimusa ebikolerere nga kyetaagisizza.

Salako enduli ennene nga za kulya era oleke ekirime kimere enseke empya oba kungula ekirime kyonna.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:29Okulima sserale okuva mu nsigo.
00:3000:54Nnyika ensigo okumala essaawa kkumi na bbiri, zinga mu kipapula, funyiza mu kaveera era oteeke mu ffiriigi okumala essawa abiri mu nnya.
00:5501:15Siga ensigo mu ttaka eritabuddwa ery‘okusigamu era okuume ettaka nga lirimu amazzi.
01:1601:32Yawula endokwa era oteeke buli kimera mu kasenge akasimbibwamu akeeyawudde.
01:3302:09Bikka emirandira nga okozesa ettaka eriteekeddwateekeddwa okusimbamu era ofukirire bulijjo.
02:1002:17Simbuliza ku wiiki nnya. gattamu era ofuule ebintu eby‘obutonde mu ttaka era osimbire ddala mu ttaka.
02:1802:38Simba sserale mu kitundu kya ffuuti okuva ku mulala nga tali mu musana.
02:3902:50Oluvannyuma lw‘okusimbuliriza ddala, fukirira.
02:5103:13Londa ekiseera ekituufu eky‘okulimiramu sserale.
03:1404:14Teekamu ebigimusa eby‘obutonde era oyongerezeeko ebigimusa ebikolerere we kyetaagisiza.
04:1504:33Salako enduli ennene oleke ekimera okukula enduli empya oba kungula ekimera kyonna.
04:3405:30Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *