Obutungulu kika kya nva ndirwa enyangu okulimwa buno bwetaaga enaku 5 ku 10 okumera mu beedi. Wabuala obutungulu bukosebwanyo ebiwuka ebibunuumamu amazzi nga trips, aphis n‘enkuyege.
Okwongerako kakasa nti obutungulu obuwa amabanga amatuufu mu beedi okwewala okulwanira ebiriisa nga ensigo zimaze okumera era wewale okuyiwamu amazzi amagi mu beedi okwewala ensigo okudda kungulu. Era kola nga obukutukutu okwewala amazzi okukulukusa obutungulu.
Endabirira ya beedi.
Bbikanga era ofukirire ekimala okuwa ensigo amazzi okusobola okumera.
Kakasa nti olambula beedi era okyeko ebibikako bwebuba nga ebitundu 50 ku 100 bimeze okubusobozesa okukula nga bwegolodde.
Era ogyeko ebibika olweggulo nga ebbugumu likendedde era ofukirire nobwegendereza.
Oluvanyuma lw‘olunaku 1 oba 2 fuwako eddagala erita obuwuka bwa fungi era wakati w‘enaku 5 ku 7 ofuyire eritta ebiwuka okusobol okukula obulungi.
Okugattako endokwa bweziweza wiiki 4 fuyirako ekigimusa ky‘ebikoola okuzigumya wamu nokuzitekatekera okusimbulizibwa.
Kakasa nti beedi ogikoola nga okozesa engalo okwewala okukosa emirandira era beedi ogiseteeze nga osimba okukendeeza emikisa gyokutwalibwa amazzi.
Ekisembayo obutungulu busimbulize ku lunaku nga enkuba ettonye oba ofukirire nga omazze okusimbuliza okwewala okuwotoka.
Ebikolebwa mu kusimbuliza
Tandika nakukola bukata okunasimbibwa endokwa era kino kikolebwa kwewala kukulukuta kwa ttaka.
Era ofuweko eddagala eritta obuwuka bwa fungi nga omaze okusimba okwewala endwadde zebuleeta era wekebejje ebimera buli kasera okusoboal okulaba ebikosa ebirime.
Lastly apply ammonia phosphate fertilizers to boost plant growth.