Obungi n’omutindo gwa strawberry okweyongera kusinzira nnyo ku tekinologiya eyeyambisiddwa mu mitendera.
Olw’okuba nti ekimmera kino kimannyiddwa okuba ekya amagoba ennyo ate nga kyangu okulimwa,ennima ya strawberry ey’okufuna mu ensimbi esoboka olw’obwetaavu obuli waggulu ate era ofunamu ekiwera mu kaseera katono wabula okukungula amangu oba okulwa wo okukungula ku kosa aamakungula.
ENDABIRIRA YA STRAWBERRY
Olwokuba nti ekirime kibaza ekibala ekimyufu,kirimibwa nnyo mu biffo ebinnyogovu era nga weyambisa obukodyo bw’okulima obulungi,wanno omulimi asobola okwongera ku makungula.
Kakasa nti ettaka olikabala bulungi era osige ku ttaka eliseeteddwa oba ku nnimiro engulumivu ekirime wekisobola okukira mu ttaka obulungi era ettaka ly’awaggulu lisigale kungulu.
Mu ngeri yemu,Simba mu mwezi gw’omwenda n’ogwekumi era woba osimba,endokwa zigibwa mu mmerusizo nezitwalibwa mu nnimiro okusimbibwa era okusimba kukolebwa mu mabanga ga kipimo kya 30cm ku 60cm okusinzira ku bungi n’ekika ky’ettaka.Kozesa okubika kw’ettaka okusobola okwewala omuddo ogwonoona ebirime mu nnimiro era olabirire emirandira gya strawbery ng’okozesa ebikozesebwa mu kugyamu omuddo mu nnimiro.Weyongere maaso ng’okozesa enjuki okukwasisa ebimuli era ofukirire ebirime ebyakasimbwa buli kaseera ng’omazze okusimba.
Mu kwongerezaako,ettaka liseemu ebigimusa ebikoleddwa mu butonde okusobola okwongera ku busobozi bwe ttaka mu kuwanirira amazzi era otangire ennimiro obuwuka n’endwadde .Oluvannyuma woba okungula,kukole kumakya era ebibala binogere ko obukondo.