Entekateeka ennungi ey‘emerusizo y‘obutungulu awamu n‘endabirira yaayo enungi kyamugaso nnyo mu ku kakasa nti ensigo z‘obutungulu zimmera bulungi nezifuuka endokwa.
Womala okusiga,ensigo zitwala ennaku 5 ku 10 okummera. Ensigo bitundu 50 ku buli kikumi wezimeruka, jjamu ebibadde bibise ettaka mu mmerusizo awamu ofukirire.Okujjako ebibadde bibise ettaka ku guno omutendera kiyamba okuziyiza endokwa okukulira mu bibadde bibise ettaka era kinno kyandikoseza endokwa nga tujjamu ebibadde bibise ettaka.
Endabirira y‘emerusizo
Ngawayise wo olunnaku lumu oba bbiri nga omazze okujjamu ebibadde bibika ettaka, endokwa ziteekeko eddagaala eritangira endwadde w‘omala ekyo, ttandiika okufuuyira mu biseera ebikugereddwa.
Nga wayiseewo ennaku nnya ng‘ojjeemu ebibadde bibise ettaka,tekaamu ekigimusa ky‘ebikoola ekitandikirwako era mu nnaku 5 ku 7 nga ojjemu ebibika ettaka ennimiro jiteekemu eddagala eriziyiza ebiwuka .
Endokwa weziweza wiiki 4,kyusa ekigimusa okozese eky‘enva endirwa.Kinno kiyamba endokwa okuguma zisobole okisimbulizibwa.
Fuba okulaba nga emerusizo ogikuuma nga temuli muddo. Okubirizibwa okukozesa engalo ng‘ojjamu omuddo osobole obutayonoona miraandira gy‘endokwa.Era kakkasa nti oseeteesa emmerusizo okusobola okwewala mukoka okwera ettaka.
Okusimbuliza.
Endokwa weziba zituuse okusimbulizibwa,naye ngaa tewali nkuba ku kwanguyiriza mu kusimbuliza,endokwa ziwe ebirungo bitono kino kijja ziremesa okukula.
Ettaka lyo weriba liri ku kaserengetto, ttema ebikatta ku ttaka okusonola okwewala mukoka okwozaako ettaka lya waggulu.
Ng‘ommaze okusimbuliza, wekkannye nnyo n‘obwegerezza endwadde ezireetebwa akawuka ka fungus n‘obuwuka okugeza nga enkukunnyi..Ettaka weriba lirina ekirungo kya phosphorous and kitono, ettaka liteekemu ekiriisa kya Di ammonium phosphate ng‘osimbuliza.