»Engeri y’okukwatamu ebibinja by’enjuki ezikola omubisi «
Okutega ebibinja by’enjuki kiyamba okukwata enjuki mu bwangu naye waliwo ebintu by’olina okukola okusobola okwongeza ku mikisa gyo egy’okukwata enjuki.
Okutega enjuki kukuyamba okufuna olulyo olulungi mu mizinga gyo. Omutego gw’ebibinja gulina okuba n’olubaawo wansi, ekituli mu koona ekikola ng’omulyango nga kirina omusumaali wakati oguziyiza ebinnyonyi okuyingira. Omutego gw’enjuki gulina okubeerako ekikwata waggulu ekiyamba mu kusiba emizinga waggulu. Munda mu mitego mubeeramu embaawo era zino zanguya okutambuza enjuki okuva mu mutego okutuuka mu muzinga omukulu.
Okuwanika omutego ogukwata gw’ebibinja by’enjuki
Nga tonaba kuwanika mutego, enjuki zitege ekizisikiriza . Abantu abasinga bakozesa buto w’omuddo gwa kisubi naye olubaawo okuli omuzinga omukadde ogwasigalako omubisi oguggyiddwa mu muzinga gusobola okukola kye kimu.
Nga omaze okuzitega ekisizikiriza, Siba era onyweza omutego ku muti. Wanika omutego mu bifo ebimanyikiddwa okugeza ku nkomerero y’omuti, mu makoona ga matabi g’emiti, emiti egiyimiridde gyokka oba ebizimbe ebyeyawudde.
Oluvannyuma lw’okukwatamu ebibinja by’enjuki
Oluvannyuma lw’okutega enjuki, linda obudde bukwate enzikiza olyoke oggyeyo n’okutambuz enjuki . Kino kiyamba enjuki zonna nga mwe muli n’ezikola omubisi okukomawo kikusobezese okubeera n’akabondo konna ekiro.
Obudde nga buzibye, bikka omulyango era okusike omutego okuva ku muti, kebera mangu n’embiro okukakasa nti omutego gulina enjuki ng’obikulako mangu ddala n’oddamu n’obikkako.
Oluvanyuma lw’okutambuza enjuki, zireke mu mutego okumala ennaku ssatu kizisobozese okutandiika okuzimba ebisenge n’enjuki enkazi etandiike okubiika amagi.
Bikula bbokisi y’omutego n’obwegendereza era okyuse embaawo okuva mu mutego ng’ogizza mu muzinga. Kozesa bulaasi y’enjuki okuggyako enjuki eziba zisigadde mu mutego. Zino zijja kusobola okwenoonyeza ekkubo okudda mu muzinga.