Engeri y’okukuzaamu obukoko bwo obw’amaggi nga bwa lunnaku lumu.

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=RfU3y_niE18&t=267s

Ebbanga: 

00:05:32

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

hiprojamaica
Amagezi ku ngeri y'okwetegekera n'okukuza obukoko bwo obw'amaggi obw'olunaku olumu.

Obulunzi bw’ebinnyonyi obwamagoba nsibuka y’ekirisa ekizimba ebisolo,era bakufuna mu ensimbi.

Waliwo emitendera abalunzi gye balina ogoberera okusobola okufuna amagoba mu bulunzi bw’ebinnyonyi.Mu kugattako,abalunzi balina okwekkenennya ebipimo by’ebbugumu n’obunnyogovu mu biyumba by’enkoko ngabamazze oba nga tebanaba kuleeta bukoko era bajjukire okupima ebbugumu n’obunnyogovu  okuvva ku kasolya ne ku ttaka.
Ebirina okufiirwako
Bulijjo kyusa obukutta ,obugyeko obukyafu era okakkase nti ekiyumba kitukula n’ebikozesebwa bibeere nga bitukula okuli ebinnywerwa mu,n’ebiriirwa mu okusobola okwewala enddwade.
Kakkasa nti ebiyumba obigala okusobola okuleetawo ebbugumu eri ebinnyonyi.
Mu kugattako,tteeka wo enkoko wezinaabira obugere okusobozesa enkoko okuyonja obugere nga tezinayingira mu kiyumba.
Bulijjo pangulula ebikozesebwa woba obyoza era obiwanike ko katono okuva wansi okusinzira ku bunenne bw’enkoko.
Mu kwongerako kozesa ebiriirwa mu ebirungi okusinzira ku mutendera enkoko kweziba era obiteekeko waggulu okuva wansi okwewala emmere okwetabula n’amazzi.
Mu nkola yemu,ppima era okuume ebbugumu mu biyumba okusobola okwanguya ku ndiisa y’enkoko era oteeketeeke ebiyumba nga wansi oteekawo obukuta.
Mu kusembyayo,amazzi gatabulemu eddagala eritta obuwuka okusobozesa obukoko okukula obulungi.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:46Engeri y'okukuzaamu obukoko bw'amaggi obw'olunaku olumu.
00:4701:17Longosa ebikozesebwa,,ebiyumba by'ebinnyonyi bigalewo era oteekewo awanabirwa obugere.
01:1801:55Pangulula ebikozesebwa mu ku lunda obukoko ng'olongosa,era obiwanike ko katono okuva wansi.
01:5602:46Kozesa ebiribwamu ebirungi okusinzira ku mutendera enkoko kweziri era obiwanikeko okuva wansi.
02:4703:41Pima era wekkaanye ebbugumu n'obunnyogovu
03:4204:11Kakkasa nti ebiyumba birimu ekitangaala
04:1205:32Teekateeka ebiyumba by'obukoko ng'awaansi obika wo obukuta,otegeke ebirirwamu,ebbinnywerwa mu era amazzi ogatabule mu eddagala eritta obuwuka

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *