Enkwasganya n‘endabirira y‘ebirundibwa eyongera omutindo n‘obungi bwobyo ebiva mu byobulunzi ku faamu era n‘okukendeeza ebinubule.
Endabirira y‘embuzi ku faamu ekolebwa nga ogoberera ebikolebwa buli lunaku kubanga kino kikendeeza ku bukambwe bw‘embuzi ku faamu. Obukambwe bw‘embuzi bukyuka ku buli kika kya mbuzi. Wabula, embuzi enkazi zo ziba n‘embeera nga nzikakamu.
Okukakanya embuzi
Nga otandika okutendeka embuzi okuva nga ekyali nto okubeera n‘omukwano nga ogikwatako, okugisanirirangako nga otuuse mu kiyumba okusaawo enkolagana era ogitakuleko ku mugongo era ozanyise omukira gwayo.
Ekisembayo, ensolo ziwe nga okufaayo n‘obudde okusobola okuzimba enkwatagana nayo.