Nga tonatandika kuwanika mizinga gyo, waliwo byewetraaga okutunulira era nga byebino; obunene bw’ekifo wamu n’obungi bw’emizinga egiyinza okugendawo. ebintu ebyetolodewo, obuwanvu okuva awaka. Ekifo ekitufu kirina kuba wansi w’amiti naddala egyo egimulisa ebimuli okusobola okufunako obuwunga wamu n’amazzi g’enjuki.
Awalundibwa enjuki
Owabulibwa okusiba olukomera ekifo w’olundira enjuki okwewala abayise okubamu ekubo kubanga enjuki enfirika nkambwe. Olukomera luyambako okutangira ebisolo nga ente n’embuzi okusala enjuki w’ezirundibwa okuzitataganya ekizivirako okuluma.
Enkomera za sengenge nungi naye zisagala nga wayise ebbanga era zetaaga okudabirizibwanga. Kikubirizibwa okukozesa olukomera lw’emiti naye nga okozesa ebimera ebivaako omubisi eri enjuki.
Omuddo okwetolola awalundibwa enjuki gukola nga emere y’enjuki.
Kirungii bwoteeka enjuki mu kibira naye bwoba tolina kibira, osobola okulonda ekifo kyo nokitereza. Wetaaga okuba n’ekisikirize ky’enjuki awo emizinga mu kisikiroize oba okukola enkondo nga buli muzinga guli ku nkodo gulina ekisikirize yakyo.
Simba ebimera ebikula amangu nga Calliandra.
Okukwata enjuki z’omunsiko
Okusasanya emizinga mu kibira kyongera ku mikisa gyokukwasa enjuki. Sooka oyonje emizinga era oyonje emiryanga, otekeko enkwanso awo okiwanike ku muti girengejje nga okozesa obuwaya oba emiguwa.
Beera nga ogirambulako okulaba ebiwuka ebiyinza okuyingiramu nga ssi njuki.
MU wiiki bbiri ku satu nga enjuki zimaze okuzinga omuzinga, gugyeyo ku mjuti nobwegenderza ogutwale w’olundira.