Engeri y‘okukuumamu omutindo ogw’awaggulu mukulima obutunda ku faamu

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=FF7NvxNGep8

Ebbanga: 

00:06:09

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Profit Passion Fruit
»Omutindo kikulu eri amagoba omutindo gw'ebibala kitegeeza nti ojja kufuna emiwendo gy'awaggulu mukatale omutindo gw'obutunda tegukuwa magoba g'awaggulu gokka wabula netutumu wamu n'okusigala nga olima obutunda kubanga obeera olaze nti obulabiridde bulungi.«

Obutunda bw‘amugaso nyo mubulamu bwaffe era singa bulimibwa mungeri ey‘omutindo omulungi bwetanirwa nyo ne kukatale olw‘nebuza amagoba mangi eri abalimi.

Ekirala okufuuyira obutunda kyekimu kubigobererwa mubulimi bw‘obutunda okusobola okufuna obutunda obw‘omutindo omulungi. Kyamugaso nyo okufuuyira obutunda ng‘okozesa ekirungo kya potassium kino kiyamba obutunda okwengera obulungi amangu ddala olwo n‘ebubeera bw‘atunzi kukatale era omulimi nasobola okufunako amagoba.

Ebigobererwa mukulima

Buli luvannyuma lwakabanga akagere teeka ebigimusa eby‘etaagisa ku bikolo by‘obutunda kisobozese obutunda okula obulungi awamu n‘okuwa amagoba amagi.

Ekirala kakasa nga okoola wamu n‘okusalira obutunda kisobozese ennimiro yo ey‘obutunda okuba nga nyonjo.

Fuuyira obutunda mubudde nga weyambisa eddagala erirambikiddwa mubipimo ebituufu kino kiyamba okukendeeza kundwadde munimiro wamu n‘okwetaangira obuwuka obuleeta endwadde.

Buli kiseera fuuyira obutunda n‘ebigimusa ebifuuyirwa ku bikoola, ebigimusa bino birina okubamu ekirungo kya calcium, boron ne zinc kisobozese obutunda okula obulungi.

Wegendereze nga okungula wamu n‘okweyabisa ebintu ebiweweevu mumakungula osobole okwewala okukalabula obutunda obukungulwa busobole okutukana n‘omutindo kukatale.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:54Buli luvannyuma lwakabanga akagere teeka ebigimusa eby‘etaagisa ku bikolo by‘obutunda.
00:5501:55Kakasa nga okoola wamu n‘okusalira obutunda kisobozese ennimiro yo ey‘obutunda okuba nga nyonjo.
01:5603:17Fuuyira obutunda mubudde nga weyambisa eddagala erirambikiddwa mubipimo ebituufu.
03:1804:01Buli kiseera fuuyira obutunda n‘ebigimusa ebifuuyirwa ku bikoola, ebigimusa bino birina okubamu ekirungo kya calcium, boron ne zinc.
04:0204:33Fuuyira obutunda ng‘okozesa ekirungo kya potassium kino kiyamba obutunda okwengera obulungi amangu ddala.
04:3405:20Wegendereze nga okungula wamu n‘okweyabisa ebintu ebiweweevu mumakungula olwo osobole okwewala okukalabula obutunda obukungulwa.
05:2106:09Ebiseera ebisinga obutunda obw‘omutindo omulungi bw‘etanirwa nyo kukatale era buza amagoba mangi.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *