Okufa kw’obukoko obuto mu naku zabwo ezisooka ebiseera ebisinga tekyebereka. Ebintu 1-5% okufa kiba kitegerekeka naye bwekisuka wano olwo kiba sikyabulijjo.
Okukendeeza kukufa, gula obukoko okuva eri abesigika kuba obuzibu butandikira mu kugula kika kibi ekyobukoko nga sibulamu. Ebizibu ebitawanya obukoko biyinza okuva ku lulyo mwebuva. Nga omaze okugula obukoko, wekenenye obulamu bwabuli kakoko era obuwe ebbugumu erimala mu buluda kubanga bwerisuka oba bweriba tono kibuvirako okufa.
Endabirira y’obukoko
Kuuma egana lyo okuva eri obunyogovu. Kino kikolebwa nga obuteramu omuliro mu biseera byobunyogovu.
Kuma mwezinywera n’emwezirirz nga biyonjo. Birongose buli kumakya era amazzi n’emere ebyasigalidde obiyiwe wala okwewala ensanafu okulumba faamu.
Kendeza ku mikisa gyokuziyira kwobukoko nga awava ebbugumu watekebwa mumakati, wewale okulekana okwekibwatukira okumpi ne famu era otangire ebirya obukoko.
Ebinyonyi byo bikuume okuva endwadde ezitabulira mu mpewo era enkoko toziriisa mere ewumbye.
Ebinyonyi byo sooka obiwe amazzi nga tonabiwa mere okukendeeza ku mikisa wamu nokwewala okwetuuma kubanga enkoko zisanyukira nnyo emere okusinga amazzi nolwekyo kiziwugula.
Enkoko zikuume eri ebiziyiganya , okuume obuyonjo mu kiyumba era oziwe amazzi agamala wamu n’emere mu binyonyi.
Goberera enkola eyokujjanjaba n’okugema nga ogemesa ebinyonyi okuva eri obulwadde obusigibwa ennyo okugeza Newcastle, fowl typhoid, Gumboro nebirala. Era wemanyize okuleta omusawo okuzikeberako.