Omuddo oguterekebwa gukolebwa neguba nga gutukiridde oluvanyuma lwa wiiki 2 ku 3 nga gusanikidwa nga kiva ku kutereka ebimera ebirmu amzzi amangi nga kasooli awantu awataguganya kuvunda mu kizimbe ekiyitibwa silo.
Wabula silo eyekinya erina okuba nga yabipimo bya 2.5m okukka, 5m obugazi era 12m obuwanvuyirivu okusobola okutereka omuddo oguwera. Era omutwe gw‘ekinya omuterekwa gulina okuba nga muwaanvu okunsinga ebyetoloddewo nga kimazze okujuzibwa nokukatirwa. Omuddo gunno okuba omulungi gulina okuba nga gwa kiragala or kala ya golodi ate nga omudugavu guba gulaga nti ssi mulungi
Emitendera
Okusooka, yalirira ebisubi ebya kiragala mu mitendera olwo obitemeteme yinki 5 ku 10 era buli muteeko gubeere nga muwanvu okutuuka ku 30cm-30cm obunene era okattire okugyamu empewo yonna.
Olwo ogatemu akaloddo mu bungi bwa 3.5-4 ku buli buzito 100 obw‘omuddo oguterekebwa okugwongera omutindo kwosa nobuwoomi.
Okwongerako, omuddo gwongeremu ebirungo byebirime eby‘empeke okufunamu ekirungo kya nitrogen nga omasirako urea mu bungi bwa 0.5-1% lu buli 100 era otekemu layimu mu bungi bwa 0.5-1% buli 100 eky‘omuddo oguterekebwa okwongera okukola asidi.
Bwomala, ogubikeko ku ngulu n‘ekivera oyongereko ettaka, osibikire wona awayita empewo okwewala okwononeka.
Ekisembayo kozesa amaterekero amasitufu bwoba otereka ku ngulu.