»Engeri y‘okukolamu ettaka eggimu mu butungulu«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.accessagriculture.org/how-make-fertile-soil-onions.

Ebbanga: 

00:11:15

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agro-Insight
»Obutungulu bulina emirandira mitono ate nga mimpi n‘olwekyo bulya ebiriisa okuva ku ttaaka eryokungulu. Kino kinnyonyola ensonga lwaki kikulu nnyo okusaayo omwoyo okufuula ettaka eggimu bwoba oyagala okusimba obutungulu.«

Okubala kwobutungulu kuyinza okweyongera ng‘obulimye ku ttaka ejjimu ngotaddemu kitono. Obugimu buyinza okweyongera ngogasseemu nnakavundira oba ebigimusa ebizungu. Obutungulu buyinza okulimwa ku ttaka ly‘olusenyu ng‘aweeyambisa ebigimusa okugeza obusa obuluddewo oba nnakavundira nga bino biwa ekimera emmere. Ekigimusa okuva mubutonde kitabulwa n‘ettaka wakiri ssenitmita 10-20 okukka mu ttaka.

Obugimu bw‘ettaka

Ssaamu amazzi agamala, kuba amangi ennyo gasabuluula ebigimusa n‘ebikka mu ttaka. Oba ssi ekyo yongera kubusobozi bwettaka okukwata amazzi ngogattamu nnakavundira nga tonasimbuliza kulwokula kwekirime okutuufu.

Sasaanya nnakavundira ng‘omutabudde ne‘ttaka ly‘okungulu engeri obutungulu engeri obutungulu gy‘ebulina emirandira emimpi.

N‘obwegendereza tekako ebigimusa ebigule nga nitrogen, phosphorus ne pottasium wiiki 2 oluvannyuma lwokusimbuliza, nitrogen ayambako mu kukola ebikoola amangu, phosphorus ku kukola emirandira n‘e potassium mu kwongera ekirime okugumira endwadde. Ekirungo kya potassium kirina okussibwa mu makoola n‘ekirime nga kiraze obubonero obulaga nti waliwo ebirungo ebibulamu.

Tekako buli kadde ebigimusa ebigule mu bipimo ebitono ng‘okola obukutu obutono mumassekati g‘ennyiriri okusobozesa ebirime okufunamu ekyenkanyi. Wewale okweyambisa urea emyezi 2 nga tonnakungula kuba nitrogen omungi aletera obumonde bwobulungulu okugonderera. Tekako potassium oba evvu ly‘embaawo okugumya ebikuta byobutungulu kunkomerero ssaako obusa oba nnakavundira okusobozesa ettaka okugonda kisobozese amazzi okuyingira n‘ekirime okukula obulungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:30Obutungulu bwetaaaga ettaka eggimu bufune emmere era bulina emirandira emimpi.
01:3101:41Engeri yokukuumamu ettaka nga ggimu ku bbeeyi entono.
01:4201:52Tekako amazzi agamala.
01:5303:52Tabula ebigimusa eby‘obutonde mu bbeedi nga tonnasimbuliza.
03:5304:21Sasaanya ebigimusa byobutonde ebitabule n‘ettaka ly‘okungulu.
04:2204:33Tekako ebiriisa ebirala wiiki 2 oluvanyuma lwokusimbuliza.
04:3406:23Tekako ebigimusa ebigule ebirina ebirungo ebikulu.
06:2406:33Beera ng‘ossaako ebigimusa mu bipimo ebisaamusaamu.
06:3407:11Kola obukutu obumpi wakati w‘ennyiriri obusibwamu ebigimusa.
07:1207:37Tekako ebigimusa byebikoola.
07:3807:49Wewale okukozesa urea emyezi 2 nga tonnakungula.
07:5008:01Tekako potassium oba evvu ly‘embaawo.
08:0209:06Tekako obusa oba nnakavundira.
09:0711:15Okuwumbawumba.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *