Ebisagazi muddo mulungi nnyo mu kukola emmere y‘ebisolo etemeddwatemeddwa.
Ebisagazi birimu ekiriisa ekizimba omubiri n‘ekizamu amaanyi mu mubiri ebisinga okuba eby‘omugaso eri ensolo ekikifuula okuba omuddo omulungi mu kukola emmere y‘ensolo. Guno gukolebwa nga bakkatira omuddo n‘ebagutereka . Wabula eno emmere eyinza okukolebwa nga tugassemu akaloddo oba nga temuli.
Okukkatira
Okukola emmere y‘ebisolo etemeddwatemeddwa okuva mu bisagazi, kyetaagisa okutematema ebisagazi nga birina nnyingo nga mukaaga. Ku mutendera guno, ekisagazi kisobola okuddamu okumera oluvanyuma lw‘okukisala wano kiba n‘ekiriisa ekyongera amaanyi mu nsolo. Totema kisagazi nga kikuze nnyo kuba kiba kikaluba ate nga tekiwomerera.
Bwoba okola emmere y‘ensolo etemeddwatemeddwa etali ya bikkira mu ttaka ,oyala ekiveera ku ttaka n‘oluvannyuma n‘otematema ebisagazi mu butundutundu nga bw‘obuteeka ku kiveera ekyo.
Kkatira ebisagazi era obiyiseeko epippa erimu amazzi ku biri byewatemyetemye okusobola okubigyamu empewo.
Saanikira kungulu nga okozesa ekiveera era ogatteko ettaka.