»Engeri y‘okukolamu emmere y‘enkoko eya layisi«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=gekoqVOcw2c

Ebbanga: 

00:10:25

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Best Farming Tips
»Engeri y‘okukolamu emmere y‘enkoko eya layisi. n‘okufuna amagoba mu bungi nga tukendeza ensasannya ya ssente ky‘ekirotto kyabuli mulimi era kyasinga okusosowaza. Engeri emu ey‘okufuna ekyo kwekukendeza ku mmere y‘ebinnyonyi n‘ensasannya endala nga wekisoboka . Akatambi kanno kannyonyola ebintu ebyangu 10 buli mulimi byasobola okola okukendeza ssente ezisasanyizibwa ku emmere y‘enkoko paka ku bitundu 90.

Okutandika obulunzi bw‘ebinnyonyi kyanzi naye okuyimiriza wo ebinnyonyi kyetaaga ssente nnyingi okufuna wojja emmere wabula, waliwo engeri ezenjawulo ezigunjuddwa wo okusobozesa okufuna emmere y‘ebinnyonyi ku layisi.

Envunnyu mmere nnungi eri ebinnyonyi ,zinno nnyangu okufuna ng‘otereka obusa bw‘obumyu mu mukebe omusaanikire okumala ennaku 4 . Okwongerezaako, emmere eyempeke zamugaso nnyo eri ebinnyonyi era nga muno mulimu, soya,muwemba ne kasooli wabula zinno zilina okusekulibwa bisobole okubwa mu lubutto mu bwangu.

Enkola ez‘okuyitamu

Bulijjo lisa enkoko obukunkumuka bw‘emmere obufisse kubanga bulimu ekiriisa ekiwa amannyi n‘kizimba omubiri.

Okwongerezaako, enkoko era zisobola okuwebwa enva endirwa kubanga zinno ziziwa ekirungo kya vitamin n‘ekyo ekigumya amagumba eri ebinnyonyi.

Era ebinnyonyi biriise omuddo nga ssere n‘ebisigalira eby‘omunimiro kuba binno bilimu ebiriisa bingi , era ebinnyonyi biwe ku bibala byastrawberry ,amapeera zisobole okufuna ekiriisa kya Vitamini C.

Kakasa nti ebinnyonyi obiwa envunnyu ,emmere y‘ensigo ekubiddwa n‘ensigo z‘entungo za sunflower era liisa enkoko emmere etabuddwa mu obulungi kasooli .

Bulijjo weyambise emmere y‘enkoko ey‘empeke ekaatuuse okumala ennaku 3 kinno kirina emigaso mingi eri enkoko n‘abalunzi kubanga kiriisa ebinnyonyi bingi.

Kakasa nti ogula emmere mu bungi osobole okufuna ebirungi by‘ofuna my kugula ebingi n‘abatunzi okusalira ko ku bbeeyi.

Okusembayo, enkoko zikirize okwenonyeza eky‘okulya wabula olina okuziwa ebirikiriza ebirala osobole okufunamu.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:31Ebinnyonyi ziriise obukunkumukabw‘emmere n‘enva endirwa nga spinach.
01:3203:31Ebinnyonyi biriise omuddo nga, ebisigalira by‘omunimiro n‘ebibala kuba bizibiwa ekiriisa kya vitamini C.
03:3205:37Era ebinnyonyi biriise envunnyu , emmere y‘empeke etabuddwa n‘ensigo y‘entungo ya sunflower.
05:3807:28Kozesa emmere y‘enkoko etabuddwa mu obulungi kasooli.
07:2908:34Era weyambise emmere y‘enkoko eyempeke ekaatuuse okumala ennaku 3.
08:3510:25Kakasa nti ogula emmere mu bungi era okilize enkoko okwenonyeza ekyokulya naye oziwe ebirikirizibwa.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *