»Engeri y‘okukolamu emmere y‘ebisolo etemeddwatemeddwa okuva mu kasooli ne mu muddo ogutabikkiddwa mu kinnya«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=kyMiebvXVuI

Ebbanga: 

00:11:10

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2020

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Hamiisi Semanda
»Endiisa y‘embuzi«

Okukola emmere y‘ebisolo etemeddwatemeddwa okuva mu kasooli y‘engeri ennyangu y‘okukozesamu ebimera bya kasooli kuba weyambisa ekirime kyonna mu kifo kya kasooli yekka.

Omuddo ogutabikkiddwa mu kinnya guyamba abalimi okukola emmere y‘ebisolo etemeddwatemeddwa ku layisi kubanga tekyetaagisa kuzimba kintu kyonna oba kusima kinnya. Okukola omuddo ogutabikkiddwa, noonya ekifo ekiseetevu nga tekiregamya mazzi era oyalewo ekiveera ku ttaka. Okukola emmere etemeddwatemeddwa okuva mu kasooli, kungula ekirime kyonna nga yakaweka kubanga ku mutendera guno ekirime kiba ne sukaali mungi ate nga kiwa ensolo amaanyi agaziyamba.

Okutematema n‘okukkatira

Ng‘omaze okukungula kasooli, mutemeteme mu butundutundu butono n‘okozesa ejjambiya oba ekyuma okusinziira ku kiki ekiriiwo. Saasaanya obutundutundu bw‘otemye ku kiveera otabulemu akaloddo. Kino kiyamba emmere eno okuwooma n‘okuwoomera ensolo era kyongera sukaali mu mmere eno etemedwatemeddwa.

Kkatira obutundu obutemeddwatemeddwa ku kiveera olwo oyiseeko epippa erimu amazzi waggulu waagwo. Emmere etemeddwatemeddwa bwetakkatirwa evunda nnyo. Nga omalirizza okukattira yongerako omutendera omulala ogwa kasooli atemeddwatemeddwa, akaloddo era oddemu okkatire.

Bw‘omaliriza, bibikke kungulu n‘ekiveera awo ogatteko ettaka

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:43Okukola emmere etemeddwatemeddwa okuva mu kasooli, kungula nga kasooli yakaweka.
01:4402:44Yiika emu eya kasooli omutemeteme asobola okuliisa embuzi 80 okumala ebbanga lya myezi 6
02:4503:36Londa ettaka essetevu obulungi osobole okukola omuddo ogutabikkiddwa mu kinnya.
03:3704:43Tematema kasooli mu butundutundu obutono.
04:4406:34Saasaanya omuddo ogutemeddwatemeddwa ku kiveera ogattemu akaloddo.
06:3509:00Kkatira era oyiseeko epippa ku muddo ogutemeddwatemeddwa.
09:0111:00Bikka kungulu n‘ekiveera era ogatteeko ettaka.
11:0111:10Okufundikira

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *