Buli nga tonatandiika kutabula mere ya byenyanja kakasa nti okozesa ebintu ebiyonjo, nga tebirina buzibu. Era ebbugumu erya waggulu nobuzito biretera emere okuba nga etabulwa bulungi.
Kebera era okozese ebirungo by’emere y’ebyenyanja mu bunji bw’amazzi obutuufu kubanga kino kikosa obulamu bw’ebyenyanja ekibivirako okuffa nolwekyo faamu okusalwa. Okugattako, obuzitto n’ebbugumu bikulu nnyo mu ku tabula emmere y’ebyenyanja kubanga bitta obuwuka obw’obulabe bu bacteria.
Emitendera egirimu
Tandika nakupiima ebirungo ebitabula emere mu bipimo ebituufu era obilambeko nga bya njawulo, binno olwo bikubibwa okusobola okwetabula. Bwokimala tabula wamu ebirungo byona ebikola emere y’ebyenyanja bulungi okukola ekintabuli nga ebipimo byenkena mu buli mere yona gyotabudde.
Okugattako, emere gyotabudde kiseemu ebbugumu nokukatira okusobola okutta obuwuka obwobulabe obuberamu era ogikolemu obuweke. Okwongerako, kazza obuweke bwokulunze obw’emere y’ebyenyanja paka nga amazzi gasigademu ebintu 6-12% okusobozesa ebyenyanja okugimira era ogigyemu empewo okusobola okulibwa obulungi ebyenyanja bi semutundu ne kasulu. Ekisembay, kakasa nti emere ogitereka mu bisabika ebirungi sako n’ekifo ekirungi okwewala okwetabika mu bikyafu.