Emitendera
Tandika nga ofumba liita 5 ez’amazzi amayonjo, bwegajja ogayiwemu kalobo aka liita 20, ogatemu obuwunga bwa muwogo era otabule, Bwomala, gatamu obungi bwebumu obw’omusaayi omufumbe, ozeeko soya, mukene, methione era otabule bulungi. Okugatako, yenga omunnyo mu mazzi, amazzi ago ogayiwe mubyewasoose okutabula oyongere okutabula.
Engeri y’okukolamu empeke
Nga omaze okutabula ekirungo, kiyiwe mu kyuma ekikola empeke era okyuuse awafulumira empeke wenkane obunene bwoyagala. Bwomala, kyusa ekyuma ekikola empeke okusobola okuyiwamu ebyatabudwa okubifuula empeke.