Kwegomba kwa buli mu lunzi wa nkoko z’anyama okutuuka ku buzito obusubirwa mu kaseera katono ddala naye waliwo ebireeta ekyo obutabawo.
Bino mulimu olulyo olubi, endya embi, endabirira embi n’endwadde. Olina okutangira ebintu ebyo okusoboizesa enkoko zo okukula amngu. Londa olulyo olutuufu okuva eri abaluuza abesigika; bwofuna olulyo olubi, amanyi go gona gosaamu okufuna enkoko z’enyama enungi gagendera bwerere. Kozesa enaku 7 ezisooka mu bukoko obuto kwegamba obuwe emere emala mu mbeera eyeyagaza kubanga wano wezisinga okukyuusa emere okufuuka omubiri. Mu wiiki ezisooka, obuko buliise emere esokerwako nga ebintu 23% protein, ku wiiki 4-8, emere ekuza nga erimu ebitundu 19% protein. Ebirirwamu bikuume nga bijjudemu emere era oziwe amazzi agokunywa nga mangi.
Ebikolebwa ebirala mu kulabirira
Wewale okulumisa obukoko obuto enjala era buwe emere nga tegwawo. Kino kiziyamba okukula ennyo.
Labirira enyumba y’obukoko. Muno mulimu okubuwa amazzi amayonjo buli lunaku, nga mulimu ekitangaala ekimala okubusobozesa okulya obulungi era wekebejje ekiyumba okulaba nga tewwali bituli omuyita ebibulya era obuwe amabanga agamala.
Obukoko buwe ebikuza eby’obutonde okugeza katungulu kyumu, kamulari, entangawuuzi. Bino era bikola nga eddagala ly’ebiwuka ery’obutonde eri endwadde.
Teeka sente mu kugula emere ey’omutindo. Emere yo gifune mu batunzi abesigika. Bwolaba nga zikula mpola ku mere engule, sigatiremu emere gyewekolede mu kasooli, soya wamu n’ekisaayi.
Enkoko zo ez’enyama zisengeke okusinzira ku bunene n’obuzito. Kino kikuyamba okufuna ezifanagana nga zikula era nokukuuma enkoko zo nga namu.