Ekiriisa ekigumya amannyo n’amagumba kirungo kikulu mu kulima era kiziyiza okuvunda mu nnyaanya.
Abalimi bangi bettanira ekirungo kya calcium nitrate okufuna ekiriisa ekigumya amagumba n’amannyo mu birime byabwe naye ekigimusa ky’ekiriisa ekigumya amagumba n’amannyo kisobola okukolebwa ng’okozesa ebisosonkole by’amagi. Ky’ojja okwetaaga by’ebisosonkole by’amagi, ekyuma ekisa n’omukebe ogw’okuteekamu ebisosonkole by’amagi n’essigiri (oven).
Ebigobererwa
Essigiri (oven) yo giteeketeeke ku bbugumu lya ddiguli 170 obugumye ebisosonkole by’amagi okumala eddakiika 20 ku 25. Kakasa nti tobirwisaamu. Kino kisobozesa ebisosonkole okukala n’okwongera okukaluba ne kyanguya okubisa.
Teeka ebisosonkole by’amagi ebikalu mu kyuma ekisa obise okakase nti obisa bulungi nnyo bifuuke obuwunga.
Obuwunga obusiddwa buteeke mu kakutiya.
Kino kikola ng’enkola endala eya layisi ennyo okusinga ekirungo kya calcium nitrate ekitali kya butonde naye ebirime byo bwe biba nga biraga obubonero bw’obutaba na kirungo kigumya magumba na mannyo kimala, kikubirizibwa okukozesa ekirungo kya calcium nitrate.