»Engeri y’okukolamu ekigimusa ky’amazzi eky’obwereere okuva kyenkana mu buli kintu«
Obugimu bw’ettaka buli mu kukendeera, abalimi bangi balima ebintu bitonotono era tebasobola ssente ennyingi ezigula ebigimusa.
Ekigimusa eky’amazzi nga kikolebwa mu bintu by’obutonde kisobola okukolebwa mu bimera ebya kiragala era kye weetaaga ky’ekibaafu oba eppipa ennene. Gijjuze amazzi era ogijjuze buli kintu ky’omanyi nti kirimu ekirungo kya nitrogen wamu n’ekyo ky’ofunye ekirimu ekirungo kyonna .
Okukola nnakavundira ow’amazzi
Oluvannyuma lw’okujjuza eppipa amazzi, osobola okuteeka mu ebintu eby’enjawulo nga tebikoma ku bino wammanga; obukuta bw’emmwanyi, ebimeremere, ekiddo, omuddo ogusaliddwasaliddwa, omuddo oguggidwa mu nnimiro, eddagala ery’ebikoola ne kalimbwe.
Bikka ku ppipa okuziyiza ensiri okwalulira mu mazzi agatatambula agali mu ppipa.
Ebikoola by’emiti egyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka okugeza nga leucaena biteeka ekiriisa kya nitrogen ekingi mu lutabu.
Oluvannyuma lw’okuteekamu ebimera ebya kiragala, leka by’otabudde bibeerewo okumala wiiki bbiri okusobozesa ebintu by’otaddemu okuvunda n’okuteeka ebiriisa mu mazzi ago nga tonnakozesa mazzi nga kigimusa.
Ebiteereddwamu okuvunda gye bbikoma okuweebwa ebbanga eddene okuvunda nga tonnakozesa bibivaamu ng’ekigimusa, gye kikoma okubeera ekirungi.
Okukozesa nnakavundira ow’amazzi, muteekeko mu ngeri yeemu nga bw’ofukirira okwetooloola emirandira oba ku bikoola by’emiti.