Okweteekereteekera omutendera
Sooka oteeke mu kalobo kiro emu ey’ebyennyanja ebisalesale,kiro emu eya sukaali owa langi eya kitaka,ekikopa kimu eky’amazzi era obitabule.Womaliriza ,ebitabuddwa bibikeko akagoye okannyweze era akalobo okateeke mu kiffo awatali kutaataagannyizibwa okumala ennaku 14.Oluvannyuma lw’ennaku ezo ng’oterese olutabulo olwo,gyamu amazzi ng’obisengejja ng’okozesa akasengejja era amazzi agasengejjeddwa,n’ebisigalidde bikuume ng’obyawudde mu kiffo awatali kutaataagannyizibwa.Mukwongerayo,akaccuppa akaterekeddwa mu ekirungo kalambe.
Okufuuyira ku birime
Kakkasa nti ebigimusa biteekebwako bulunji ku birime okugeza enva endiirwa,ebibala n’ebirime ebikozesebwa mukutonatona.Tabula ebijiiko bya sukaali 2 ku 3 ez’ekigimusa mu liita y’amazzi emu.Mukugattako,ebikoola by’ekirime n’ettaka kakasa obifuuyira bulungi amazzi ago buli nnaku musaanvu okutuusa ng’ekirime kituusa ku mutendera gw’okumulisa.