Obulunzi bw‘embuzi buliko amagoba mangi kubanga ennyama yaazo ewooma ate tezetaaga bukodyo bwamanyi okizirunda.
Ennyama y‘embuzi eyagalwa nyo olw‘ensonga nti ewooma nyo. Embuzi zetanirwa nyo kukatale ate nga osobola okuzirndira awaka ng‘azisibiddwa kumiguwa, mubiyumba oba okuzisiba kuttale.
Okukuza embuzi
Embuzi ezirundibwa munnyumba zirina okuweebwa omwaganya okutambulamu wabweeru okumala essawa ng‘emu kino kiziyamba okukula obulungi wamu n‘okweyagala.
Ekirala embuzi zirise ku mmere y‘empeke, ey‘omuddo ogugazidwa oba ogwakiragala. Embuzi bweziba zirundibwa munyumba zirina okuweebwa ekifo ekimala nga kigazi kizisobozese okweyagala obulungi.
Kuuma ennyumba y‘embuzi n‘ebifo ebyetolodewo nga biyonjo osobole okwewala endwadde. Obwana bw‘embuzi buliise ku mmere emala ate nga erimu ebiriisa.
Osobola n‘okuliisa embuzi kunsekeseke z‘omuceere ezikazidwa nga ogasemu akaloddo. Wetanire nyo okuliisa embuzi ku mmere e‘yempeke kizisobozese okukula obulungi.
Embuzi ziwe amazzi amayonjo, buli mbuzi yetaaga liita emu oba biri ez‘amazzi buli lunaku. Kakasa nga embuzi zigemebwa mubudde awamu n‘okuzijanjaba enjyoka.
Ekirala weewale okuliisa embuzi ku mmere erudewo. N‘ekisembayo longoosa ekifo embuzi wezirundibwa kizisobozese okweyagala wamu n‘okwetangira okubalukawo kw‘endwadde.