Omuddo gwamutawaana nnyo eri abalimi kubanga gutwala amazzi n‘ebirungo olwo omuceere negufuna bitono. N‘olwekyo kirungi nnyo okumannya engeri y‘okukwatamu omuddo gunno obulungi.
Omuddo tegulinga muceere ogusinga guffa nga guli mu mazzi. Ensigo z‘omuddo zisangibwa mu ttaka olwo nezisaasanyizibwa embuyaga nezitwala amazzi. Ensigo z‘omuddo ezimu zigatibwa mu muceere . Mu wiiki mukaaga ezisooka , ensigo z‘omuddo zinno wezisinga okuba ez‘omutawaana.
Okuziyiza Omuddo.
Okukabala kutta era kwokya ensigo z‘omuddo, zireme okukula.Omuddo ogusinga guffa ng‘enimiro egenzeemu amazzi okumala wiiki bbiri. n‘olwekyo kabala era enimiro ojiregamye mu amazzi nga tonasiga.
Kuuma emiwaatwa ejifukirira n‘ensonda z‘enimiro nga teziriimu muddo era okozese ensigo ezitaliimu za muddo. Wokozesa ensigo eziri ku mutindo ofuna ebimmera ebiggumu ebisobola okugumira omuddo obulungi. Endokwa z‘omuceere ennyangu mu kusimba zisobola okulwanyisa omuddo.
Wosimbuliza endokwa eza wiiki ebbiri, kisobozesa omuceere okulwannyisa omuddo. woba tolina budde bwa kusimbuliza, osobola okutandika okusimba ensigo ezitanameruka . Teeka ensigo z‘omuceere mu mazzi ojemu ezo eziba zirengejja kungulu . Kakasa nti okozesa omuceere omulamu ogutaliimu muddo era ozitereke paka enkeera. Olwo oguleke gumere okumala ennaku bbiri.
Omuddo gukula mungi nga waliwo ebbanga ddenne wakati w‘ebimere by‘omukeere . Omuceere ogw‘entobazi gusobola okusimbibwa sentiimita 15 ku 20 okuva ku kimera ekimu okudda ku kirala. Okujamu omuddo kyangu nnyo nga ebirime by‘omuceere bisimbiddwa mu nnyiriri .
W‘osimba obuterevu, olina okukabala oluvannyuma lwa wiiki ssattu omulundi ogusooka. wiiki bbiri oba ssattu nga ziyiseewo osobola okujjamu omuddo omulundi ogw‘okubiri. Omuceere omusimbulize gwo wetaaga okujjamu omuddo omulundi gumu ebimera nga bitandise okusimbibwa. Ku mutendera gw‘okusimba omuceere ky‘ekiseera ekisinga okwongera ekirungo kya nitrogen mu nimiro .Eddagala erifuuyirwa ku birime lisobola okozesebwa okusobola okwewala omuddo. Ennimiro erina okuba nga nongose oleme okugimusa omuddo.