Okulima kusoomozebwa nnyo ebintu eby‘enjjawulo okuli obuwuka n‘obulwadde,enkyukakyukaa y‘obudde n‘okulumbibwa obuwuka nga omulimi teyetegese.
Amappaapaali gabaza ebibala kumu kumu era gaba n‘obuwaangazi bwa myaka 4 ku 5. Osobola ookwawula eppaapaali ekazi ku ssajja nga gamaze kumulisa.Eppaapaali essajja liba n‘ebimuli bya kikula kya mirundi ebibiri n‘ebibaala ebiri awamu ku nkomerero y‘amatabi wabula ebibala binno tebiba bilungi. Olw‘okuba nti eppaapaali linno liba n‘ebikula bibiri okuli ekikazi n‘ekisajja liba lisobola okwekwasisa.Ebibala ebiguvaako biba biwanvu naye nga bitono wabula nga birungii.
Emigaso gy‘amappaaapali
Amappaapali gakolwamu ice cream,omubisi omusu,jam,n‘omwenge.
Amappaapali gavaamu amasanda agakolwamu ekiriisa ekiyitibwa Papain ekyanguya ku nkubwa y‘emmere mu lubutto kinno kikozesebwa mu makolero g‘ebyokunnywa,mu nnyama y‘omubikebe ne mu matundiro g‘eddagala.
Tusobola okufuna mu ennyo mu mappaapaali singa tuba tugakozeemu ekintu ekirala.
Okulembeka amazzi
Mu kiseera ky‘enkuba,lembeka amazzi gonakozessa mu kufukirira ebirime byo mu kiseera kye kyeeya.Wewale okozesa ebyuma ebifukirira wabula kozesa enkola y‘okufukiriza amatondo osobole obutoonoona mazzi.
Wetanire nnyo okukyusakyusa ebirime okusobola okukuuma ettaka nga ddungi.Okulima n‘okulunda omulundi ogumu biyamba omulimi okufuna mu ennyo anti aba akungula ebintu ebyenjjawulo mu mwaka.Lambulirira ennimiro osobole okuzuula obuwuka oba obulwadde webubaamu fuuyira ennimiro yo n‘eddagala erita obuwuka oba eryo erifuuyirwa ku bikoola.