Omubisi gw’enjuki kyekimu ku bisinga obukulu ebiva mu kulunda enjuki era okuguwakula obulungi kikulu mu kwongera okufuna mu mulimu gw’okulunda enjuki.
Nga tonagenda ku kuwakula mubisi, olina okukakasa nti ebintu by’omubiri gwo obisabise bulungi nga oyamba ekyambalo ekisabika omubiri era nga kibaako, e suuti, magetisi wamu ne giravu (gloves). Nga tonasanukula muzinga, weteega okunyokeza omukka okukakanya enjuki. Omuka gufunibwa nga okuma ebomba ejuzibwa obubajjo bw’enku.
Engeri y’okuwakulamu omubisi
Mu muzinga ogw’ekika kya langstroth, mulimu obusenge 5 naye 2 bwoka bwebubamu ebisu omuli omubisi nga bwebuba waggulu ate obusatu obw’awansi muberamu magi nga nabakyala.
Mu buli kasenge akawaggulu mubamu ebisu 10 era nga buli kisu kigibwayo mpolampola nobwegendereza. Ebisu bino mubamu omubisi nga gubikidwa enjuki.
olugendo lw’okuwakula lutandika nga ogyako envumbo ebika ebisu by’omubisi nga okozesa akambe. Nga omaze okugyako envumbo, omubisi gujja kutandika okutonyo nolwekyo wetaaga okukozesamu kubwangu.
Nga omaze okugyako envumbo, yingiza emigo mu kikamula era otandike okunyoola okugyamu omubisi.
Nga omaze okunyoola nokugyayo omubisi ku njuyi zombi ez’emigo, osigaza ebisu bikalu era bizidibwamu mu busenge obubiri olwo nebudda mu muzinga okutandika okujuzamu omubisi buto.
Engeri yokulongoosa omubisi
Nga omaze okunyoola emyango, omubisi gukunganira wansi mu ntobo w’ekyuma ekikenerura gyekusengejebwa nkasengejja ak’emigo ebiri okugyamu ebintu byona olwo nosigaza mubisi muyonjo gwoka.
Omubis gusobola okutekebwa mu jaaga emu emu ate envumbo nekolebwamu ebintu ebirala nga emisubaawa.