Obulunzi bw‘embizzi buliko amagoba mangi ddala lw‘akuba okutandika faamu y‘embizzi sikyangu, wabula singa oba ofunye okutendekebwa awamu n‘ensibi osobola okutandika obulunzi bw‘embizzi n‘ofunamu amagoba mangi ddala.
Ensangi zino abalunzi bangi betanidde nyo okulunda embizzi kubanga ennyama yaazo yetanirwa nyo kukatale, zizaala mangu ate era nga zikula mangu, zigumira enkyukakyuka y‘obudde, nyangu zakulunda ate era ziza mangu amagoba. Abalimi abamu balemelerwa obulunzi bw‘embizzi olwensonga ezitali zimu okugeza bangi tebenyigira mubulinzi wabula batuma, abalala bagula embizzi ezalayisi ate nga z‘alulyo lubi, abamu baliisa ensolo ku mmere embi etaliimu kiriisa ate abalala tebetanira kukuma biwandiiko. Bwoba otandika obulunzi bw‘embizzi wetanire nyo okugula ensolo ez‘olulyo olulungi okusobola okufuna amagoba.
Ebimu kubiwanguza
Nga tonatandika bulunzi bwa mbizzi sooka wekenenye akatale kayimiridde katya kino kikuyamba okumanya ekifo oba akatale awokutunda ensolo zo wamu n‘ebyo ebizivaamu olwo n‘ofuna amagoba amangi.
Buli kiseera weyongere okuyiga obulunzi bw‘embizi okuva kwabo abakola omulimu guno mukitundu kyo osobole okumanya byobasinga, amanyi go wegali, wamu n‘okutegeera obunafu bwo olwo kikuyambe okumanya by‘olina okusaamu amanyi okutumbula omulimu gwo ogw‘obulunzi bw‘embizzi.
Ekirala bwoba otandika okulunda ensolo zino tandika n‘ensolo ntono kino kikuyamba obutafirizibwa nyo nsimbi singa wabaawo obuzibu bwonna awamu n‘okuwa essomo butya bw‘olina okulunda embizzi.
Ffuba nnyo okuliisa embizzi ku mmere erimu ebiriisa awamu n‘okuzijanjaba okugeza ng‘oyita mukuzigema, okujanjaba enjoka kizisobozese okula obulungi awamu n‘okuwa amagoba amangi. Ekirala zimba ennyumba y‘ensolo zino nga y‘amulembe kikusobozese okwawula embizzi okusinziira ku myaka gyaazo awamu n‘okusobozesa okuziriisa obulungi.
Kufaamu y‘embizzi ziimbako ekifo ekikuwa amazzi agoluberera kubanga ensolo zino zetaaga nnyo amazzi okusobola okula obulungi. Ekisembayo wenyigire nnyo mubulunzi wewale okufirizibwa okuva eri abakozi.