.[[;ll ,
W’okwata ekibinja ky’enjjuki ng’okozesa akabokisi akakungannya enjjuki,ekibinjja kino kitwalibwa mu muzinga omukulu nga wayiseewo wiiki 2.Ngatonazikyusa kiffo,wetaaga ekikoomera,n’omuguwa singa omuzinga guba waggulu nnyo,ekyera enjjuki,ekikozesebwa mu muzinga n’ekyokwekumisa okuva eri enjjuki.Okukyusa enjjuki oziza mu kiffo ekirala kikolebwa bulungi nnyo ng’embeera y’obudde mpeweevu mu budde bw’olwegulo.
okukyusa enjjuki oziza mu kiffo ekirala
Tandiika nakuzikoomera okusobola okukakkannya enjjuki enkuumi eziba ku mulyango ,oluvannyuma okomere omuzinga gwonna.woba kumutendera gunno olina okuba omukakkamu ennyo nga wekisoboka.
Zungulula omuguwa osse akabokisi akakungannya enjjuki mpola.Oluvannyuma akabokisi akakungannya enjjuki katwale mu muuzinga omukulu.
Jjako ekisaanikira ky’omuzinga omukulu era ogyeko obutti 5 obwawaggulu.Ng’okozesa akakozesebwa mu muzinga ,gulawo akabokisi akakungannya enjjuki nga wokoomera.Jjako emitti gyawaggulu ku kabokisi akakwatta enjjuuki okateeke omulundi gumu munda mu muzinga omukulu.
Akabokisi kakyuse ekyawaggulu kitunule wansi era okanyennye okusobola okugyamu enjjuki zigende mu muzinga omukulu.
Zaako obutti bwawaggulu ku kabokisi akakungaanya enjjuki ng’obugya mu muzinga omukulu oddemu okozese akabokisi ako okutega ekibinjja ky’enjjuki ekirala.