Abalunzi bangi betanira nnyo obulunzi bw‘enkoko ze‘nnyama kubanga zino ziwa amagoba. Endabirira ennungi mubulunzi bw‘enkoko kyekimu kubireeta amagoba munkoko.
Endabirira ennungi ey‘obukuta ky‘amugaso nnyo mununda y‘enkoko z‘ennyama, ez‘amagi wamu n‘emununda y‘embizzi kubanga kubukuta ebinyonyi, kw‘ebiriira wamu n‘okwebaka. Kakasa nga obukuta buno buwa ebinyonyi okuwumula obulungi. Kino kikolebwa ng‘okakasa nti obukuta bukalu okuyita mukuteeka ebinyweebwamu mukifo ekirungi enkoko wezitayiiza kubikoona kuyiiwa mazzi. Obukuta bulina okuba nga butonotono ate wetanire nnyo okozesa obukuta bw‘embaawo.
Endabirira y‘enkoko z‘ennyama
Fuuba okulaba nga ekiyumba ky‘enkoko kiyisa bulungi empeewo ey‘obulamu okusobozesa omukka gwa ammonia okufuluma kubanga guno guletera ekiyumba okuwunya obubi olwo enkoko n‘ezifuna edwadde.
Weewale okuteeka enkoko nyingi mukiyumba ekimu n‘abwekityo fuba okulaba ng‘oteeka enkoko 12 buli luvannyuma lwa mita 2 mukifo ekiyisa obulungi empewo.
Kakasa ng‘okyuusakyusa obukuta bw‘enkoko buli kiseera. Ekirala teeka obukuta obumala muyiyumba ky‘enkoko ogutangira enkoko eri obuyogovu obuva wansi.
Endabirira embi ey‘obukuta
Bw‘otalabirira bulungi bukuta mukiyumba ky‘enkoko kiviirako endwadde nnyingi okugeza kireeta bird foot dermatitis ekirwadde ekiviirako enkoko okuziimba ebigere. Ekirwadde kino kiretera enkoko okulumizibwa mukutambula wamu n‘ebiwundu kubigere nga muno mwemuyita obuwuka obuleeta endwadde endala nnyingi. Mubiseera by‘obunyogovu enkoko zirumbibwa nnyo obulwadde okugeza nga coccidiosis.
Ekirwadde kya bird foot era kireeta obulumi mukigere ky‘enkoko n‘abwekityo enkoko ebeera tekyasobola kutambula era nga eriira mukifo kimu kino kiviirako enkoko obutazimba bulungi mubiri era nga nomutindo gw‘ennyama yaayo gubeera mubi ddala.
Endabririra embi ey‘obukuta era eviirako okungaana kw‘omuka oguyitibwa ammonia nga guno guletera ekiyumba okuwunya. Omuka guno gupimibwa nga weyambisa ammonia metre.