Okusobola okufuna amagoba amangi ddala mu bizinensi y‘okulunda enkoko, oyina okufuna olulyo olutuufu kunanga buli kimu kisoboka okubeera nga kiterezebwa naye olulyo si ly‘elusokelwaako .
Mukubeera n‘olulyo olutali lulungi, tojja kufunamu bulungi nebw‘onaziwa emere esinga okubeera ennungi n‘okuzifaako okukyaasinze tezijja kuwa makungula malungi.
Okulonda olulyo
Kola okunoonyereza nti singa obeera ogenda kulunda nkoko z‘amagi. Osobola okulonda ekika kya highland brown oba bovens brown oba normans brown okusobola okulonda olulyo olukakasiddwa kubanga ziyina amakungula amangi.
Kirungi okutegeera nti sente ezisasaanyizibwa zezimu ku binyonyi bwonna kasita zibeera nga z‘amagi. Newankubadde, nga amakungula g‘awukana n‘olw‘ekyo olulyo lukulu nnyo mukufuna amagoba amangi.
Endiisa
Okulonda ekikka ky‘emere ekirungi era ey‘omutindo kiyamba okufuna amakungula amalungi bw‘ogigereza kw‘etali y‘amutindo. Omutindo gwemere guyamba okufuna amakungula amalungi nga kirabikira ku muwendo gw‘amagi, okw‘eyongera kw‘obuzito oba okuzitowa nkw‘enkoko.
Omutindo gwemere wamu n‘olulyo lw‘enkoko kiwa enkoko endya ennungi.
Enkola z‘okulabirira
Kino kitwaaliramu ebintu ebituufu ebikolebwa mukulunda. Bino mulimu okuliisa enkoko emirundi ebiri buli lunaku wamu n‘okuziwa amazzi agamala, mukufuna ebikolebwa eby‘abuli lunnaku mukulunda enkoko. Kino kiyambako okukendeeza ebanyi era n‘okw‘ongera omutindo wamu n‘okugema, okusala emimwa gy‘enkoko.
Nekisembayo, ky‘amugaso nnyo okusaawo ngeri ez‘okutangiramu eddwadde ku famu mukusobola okufunamu ennyo nga kino kiziyiza okufa kw‘ebinyonyi wamu n‘amakungula ag‘amaanyi.