Akasaanyi mu birime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka kimu ku bitonde ebyonoona ebirime ekyamaanyi okugeza kawo era kireeta obukosefu, naye kisobola okutangirwa mu ngeri ey‘obutonde nga tukozesa abalabe baako ab‘obutonde nga z‘ennumba.
Amabala agatali ga bulijjo ku bikoola kasobola okuba akabonero akalaga obukosefu munda nga ke kasaanyi akato mu birime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka nga kakulira munda akabiika ne kasaasaanya ku bimuli bya kawo ne biteeka ekituli mu kimuli ne katandika okukirya. Ebimuli ebikosefu bisobola okulabibwa ku kubeerawo kw‘obubi ku bimuli ne kibiviirako okufa. Akasaanyi era ne katuuka ku minyololo ne koonoona ensigo olwo ne kagwa wansi okuyita mu kaguwa nga kamaze okuyita mu mitendera etaano egy‘obulamu bwako ne kafuuka namatimbo era ne kifuuka ekiwojjolo oluvannyuma lw‘ennaku ttaano ku mukaaga ne kifuna ekifo ekirungi okusuula amagi.
Ennumba
Ng‘ekiwojjolo kimaze okubiika amagi, ennumba entono erumba amagi ago n‘eteekamu amagi gaayo mu magi g‘akasaanyi mu birime ebyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka nga kakozesa we kafulumiza. Amagi g‘akasaanyi galiibwa ennumba era mu kifo ky‘akasaanyi okutondebwa, nnumba y‘etondebwa. Ennumba ezitondeddwa zeewakisa era enkazi zirya amagi amalala ag‘akasaanyi olwo ne kiyamba okukendeeza ku bungi bw‘obusaanyi.