»Engeri taano ezokozesa okwongera kubuzito bw‘enkoko ez‘ennyama«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=_tnNSvS9VEM

Ebbanga: 

00:03:25

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Adams Farm Foods
Related videos
»Mukatambi kano mulimu obubaka obukwaata kungeri taano omulunzi zayinza okweyambisa nasobola okwongera kubuzito bw‘enkoko ez‘ennyama okusobola okufuna amagoba amangi mu bulunzi bw‘enkoko«

Enkoko z‘ennyama zikula era zibeera n‘omubiri omuzito olw‘ensonga nti obutafaali bw‘omubiri gwaazo buzikuza mangu n‘abwekityo enkoko zino zireeta amagoba mangi mukaseera katono ddala.

Enkoko ezivudde mumatundiro g‘obukoko agesigika zibeera n‘obutafaali mumubiri obuzisobozesa okukula amangu n‘abwekityo kyamugaso nnyo okusooka ononyereza era n‘okwebuuza ku kifo ekyesigika wonyinza ogugula obukoko bw‘ennyama obw‘omutindo omulungi.

Okwongera kubuzito

Tandika na kussengeka nkoko ng‘osinziira kubuzito n‘obunene bwaazo kino kiyamba enkoko zonna ezikumirwa awamu okusobola okutuuka kummere nabw‘ekityo n‘ezirya era n‘ezikula bulungi. Start

Ekirala bw‘oba olunda kakasa ng‘oliisa enkoko kumere ey‘omutindo ogwawagulu ate ng‘erimu ekiriisa ekiziimba omubiri kisobozese ebinywa by‘enkoko okula obulungi.

Kakasa ng‘enkoko z‘ennyama ziriira mubudde ate nga tezirumwa nnyo njala olwo zisobole okutukana n‘omutindo kukatale.

Ekisembayo, nga tonatandika bulunzi bwankoko sooka ononyereza era webuuze ku kifo wonyinza ogugula obukoko bw‘ennyama obw‘omutindo omulungi kubanga obukoko obulungi bukula mangu olwo n‘ebuza amagoba eri abalunzi mukaseera katono.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:45Enkoko z‘ennyama enzito zireeta amagoba mangi nabw‘ekityo kyamugaso okwongera kubuzito bw‘enkoko.
00:4601:07Enkoko z‘ennyama zatunzi era zetanirwa nnyo nadala mubiseera by‘enaku enkulu.
01:0801:45Emitendera mukwongera obuzito kunkoko z‘ennyama: Ssengeka enkoko z‘ennyama ng‘osinziira kubuzito bwaazo.
01:4602:02Kakasa ng‘oliisa enkoko kumere ey‘omutindo ogwawagulu ate ng‘erimu ekiriisa.
02:0302:24N‘ekirala enkoko z‘ennyama ziriise kumere erimu ekiriisa ekizimba omubiri (protein).
02:2502:42Kakasa ng‘enkoko z‘ennyama ziriira mubudde ate nga tezirumwa nnyo njala.
02:4303:25Nga tonatandika bulunzi sooka ononyereza era webuuze ku kifo wonyinza ogugula obukoko bw‘ennyama obw‘omutindo omulungi.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *