Yoghurt akolebwa mu mata era alina emigaso mingi eri obulamu eri abamukozesa ate era wamu n‘ensimbi eri abalunzi abalunda mungeri yokufuna amagoba era kitwala emitendera mitono okumukola.
Ebikozesebwa eby‘etagibwa mulimu: Amata g‘obuwunga, sukaali, obuwuka obuletera amata okukatuuka, ebikuuma obuwangaazi n‘akawoowo. Mukukola yoghurt osobola okukozesa emikono gyo oba akuuma akapima ebbugumu okusobola okupima ebbugumu erisaanidde.
Emitendera egigobererwa
Tandika n‘okuyiwa amazzi agookya mukalobo, gatamu amata g‘obuwunga era otabule bulungi okukakasa nti zona empulunguse zivudemu.
Awo sengejja amata agatabuddwa bulungi okusobola okujamu empulunguse ezisigade mu mata.
Oluvanyuma woza amata nga otabula oba gattamu amazzi amawolu mubugumu lya 40-45 degrees celsius. Ebbugumu eringi lisobola okukendezebwa n‘amazzi aganyogoga.
Mukweeyogerayo, soma ebbugumu ly‘ebitabuddwa nga weyambisa akuuma akapima ebbugumu n‘obunyogovu.
Oluvanyuma lw‘okukugattamu ejiiko z‘obuwuka obuleeta okukatuuka mu mata 2-3 era yiwa ebitabuddwa mu fulasika.
Kakasa nti osaanikira fulasika okukirizisa okukatuuka okumala esaawa 7, oluvanyuma saanukula, tabula.
Ekisembayo, gattamu ebirala nga sukaali, akawowo, ebikuuma obuwangaazi.