»Engeri esinga ey’okuterekamu ensigo«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=ZySksTUSF5o&t=297s

Ebbanga: 

08:00:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2022

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Growing In The Garden
»Ekintu buli mulimi kyayina z'ensigo. Tuzigula, tuzigabana era nga tuyina okufuna engeri esinga ey'okuzikuumamu. Nkozeseza engeri ezenjawulo ez'okutereka okumala emyaaka mingi okusinziira kumbeera yange n'obungi bwensigo zenina. Kyamugaso nnyo okufuna eteekateeka yensigo en'ekukolera. «

»Engeri esinga ey’okuterekamu ensigo«

Ensigo kyekimu kubisinga omugaso kubiteekebwaamu mukulima. Okuzitereka obulungi kizifuula ennamu okumala ekiseera kiwanvu.
Mukutereka ensigo, kakasa nti oziwa embeera esinga ey’okuzitereka.
Ekisinga okubeera eky’omugaso kwekuba nti ensigo tezifuna mazzi, empewo, ebbugumu, n’ekitangaala kubanga enkwatagana yabino byonna ereetera ensigo okumera. Ebbugumu erisaanide okuterekamu ensigo lyakipimo okuva ku 0 okutuusa ku 10degrees celcius.

Obuwangaazi bwensigo

Ensigo bwezifuna empewo olyo obuwangaazi bwaazo bukendeera n’olwekyo funa omukebe ogutayitamu mpewo ozisibiremu.
Okumera kwensigo kukendeera oluvanyuma lw’ekiseera okuyitawo wadde nga ensigo ezimu zanguwa okukedeera kubuwangaazi bwazo okusinga kunddala. Ensigo ezimu tezaagala kuzitereka era teziwangalirako ddala. okugeza, esigo eza chives, katunguluccumu, leek, turnip n’obutungulu.  Ensigo ezimu ziyina obuwangaazi bwa myaaka 2 ku 3 bweziba ziterekedwa mumbeera ennungi. okugeza, kaloti, celery, kasooli, fennel, spinach.
Ensigo ezimu ziwangaala ebanga lya myaaka 4 ku 5 okugeza, ebijanjaalo, lettuce, pea, kamulali, radish, chard.
Ebimera ebiwangaala okusukka emyaaka 5 mulimu, ekirime kya cole, cucumber, bbiringanya, mellons, ennyannya, ensuju ne squash.
 

 Obukodyo mukutereka ensigo

Funa enkola ekukolera okusinziira kukika ky’ensigo z’olina era n’obungi bw’azo.
Kakasa nti olamba ensigo zo n’obubaka bungi nga bwekisoboka.
Gunjaawo enkola gy’okozesa era okyuusekyuuse ensigo zo buli makungula kwekugamba, kozesa ensigo enkadde nga tonakozesa mpya.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:20Gunjaawo embeera ey'etagisa eri ensigo z'otereka.
01:2101:44Kakasa nti ensigo eziterekedwa tezifuna mpewo nyo.
01:4503:41Tegeera nti ensigo ez'enjawulo ziyinz obuwangaazi bwa njawulo.
03:4205:37Londa entereka y'ensigo ekugyaamu nga gwe.
05:3807:48Lamba emikebe gyensigo zo.
07:4908:00Mubufunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi