»Engeri esinga ey’okulimamu ekirime kya broccoli«
Ekirime kya broccoli kyekimu kunva endiirwa ezirimibwa abalimi benva endiirwa abangi naye waliwo obukodyo obuyina okuteekebwa munkola okusobola okwongeza kumakungula.
Akakodyo akasooka kwekulonda ekika ekisinga ekijja mumbeera y’obudde bwo. Ekirime kya broccoli kisinga kukulira mubunyogovu naye waliwo ebika ebitono ebisobola okukulira mumbeera y’obudde eyo gy’obeera. Ekika ekiyitibwa emperial ekya broccoli kikulira mu bbugumu era kikendeeza okukula kw’akyo ebbugumu werigenda nga likendeera. Ekika ekiyitibwa green magic kigezaako okugumira ebbugumu, ekika ekiyitibwa bell star kino kisobola okugumira ebbugumu nga bwekikuba amatabi kumabbali ate nga ekika kya marathon kyo kigumira bunyogovu.
Obukodyo obulala
Simba ekirime kya broccoli mudde obutuufu. Ekirime kya broccoli kyagolanyo obunyogovu n’olwekyo kyetaaga obunyogovu okusobola okukula obulungi. Singa wabaawo ebbugumu lingi ekirime kya broccoli tekijja kukula bulungi. Broccoli akulidde mubunyogovu ajja kubeeranga awooma.
Osobola okusimba ensigo z’ekirime kya broccoli mubanga lya buli wiiki 3 okusobola kubeera nga okungula ekirime kino buli kiseera. Okuloonda ekifo ekituufu okulima ekirime kya broccoli. Newankubade nga broccoli ayagala obunyogovu naye y’etaaga omusana mungi okubeera nga akula bulungi. Londa ekifo ekifuna omusana ekitono ennyo esaawa 6 buli lunnaku.
Simba ekirime kya broccoli ku ttaka erigulumiziddwa era nga gimu bulungi. Simba ensigo za broccoli mu binnya bya kimu ky’akuna oba ekitundu kya yiiki mubuwanvu okuzikuza okufuuka endokwa ozisimbulirize mu mabanga ga yiinchi 12ku 20 okuva ku kinnya ekimu okutuusa kukirala.
Faayo eri endokwa za broccoli ezisimbulizidwa. Ekirime kya broccoli kikula bulungi n’amazzi agatakyuukakyuuka.
Teekamu ebigimusa eby’obutonde ebisaanide ekitono enyo omulundi gumu buli mweezi okutuusa bwekikula. Ziyiza obusaanyi mu kirime kyo ekya broccoli.
Kungula broccoli wo mukiseera ekituufu nga ebikoola tebinayanjuluza. Kungula kumakya nga otemako obutabi nga weyambisa akambe akoogi obulungi.