»Engeri enungi eyokulabirira ente z‘amata ku musana«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=CRDyOuVMq7k

Ebbanga: 

04:51:21

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Digital Agriculture
»Olutambi luno lulimu emitendera egigobererwa ku musana okukendeeza ekabyo eriva ku bbugumu mu nte okugeza entula y‘ekiralo, okuziwa ebikendeeza ebbugumu nga ebiwujjo, ebibuba oluffu, obufuyira, okuziwa amazzi agatagwao nga mayonjo, okuziwa omuddo ogulimu amazzi, nokuzizanyikiriza.«

Endabirira y‘okumusana byebyo ebintu byogoberera mu biseera bye kyeeya okukendeza ekabyo eriva ku buggumu mu nte z‘amata.

Ebbugumu eriyitiridde mu bilaalo by‘ente bulijjo bireeeta ekabyo eri ensolo ekikendeeza ku ngeri kyezigabamu era nekikendeeza obungi bw‘amata agakamibwa okuva mu nte, lireeta obulwadde mu nsolo era nekivirako okufirwa okunene nolwekyo kakasa nti olabirira bulungi mu kyeeya okutekawo embeera esaniide obulamu bw‘ebisolo mu biseera by‘omusana.

Okukendeeza ebbugumu

Zimbanga ekiralo nga kitunula buvanjuba oba bugwanjuba nga kiyitamu empeewo bulungi okwewala enjuba okuzikubamu.

Era kozesa ebikendeeza ebbugumu okugeza ebisikirize, ebiwujjo, ebisibi, ebyuma ebikyusa empweo n‘obufukirira amazzi okukendeeza ku kabyo mu nsolo eriva ku bbugumu.

Okwongerako, ebisolo biwe amazzi g‘okunywa nga mayonjo okukendeeza enyonta mu bisolo.

Okweyongerayo, ebisolo biwe omuddo omukka oggulimu amazzi ogwa kiragala ku makya n‘olweggulo.

Ekisembayo sima ebidiba by‘amazzi okwetolola faamu ebisolo bisobole okuwuga mu naku ez‘ebbugumu enyo.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:37Endabirira y‘okumusana ekendeza ekabyo eriva ku buggumu mu nte z‘amata.
00:3801:10Zimba ekiralo nga kitunula buvanjuba oba bugwanjuba nga kiyitamu empeewo bulungi
01:1103:36Kozesa ebikendeeza ebbugumu okugeza ebisikirize, ebiwujjo, ebisibi, ebyuma ebikyusa empweo n‘obufukirira amazzi
03:3704:11Ebisolo biwe amazzi g‘okunywa nga mayonjo.
04:1204:56Ebisolo biwe omuddo omukka oggulimu amazzi ogwa kiragala ku makya n‘olweggulo.
04:5705:07Sima ebidiba by‘amazzi okwetolola faamu

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *