»Engeri ennyangu ate eyalayisi ey‘okukuzaamu obukoko nga tebufudde«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=xeUo-jsPq1Y

Ebbanga: 

00:10:13

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2021

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AIM Agriculture
»Brenda, annyonyola engeri y‘oProfeeds Head of Technical , demonstrates with an on-farm masterclass on all you need to know to get the best results form you broiler project. Focused on chick placement, Brenda walks you through the chicken house where the chicks are 3 days old.«

Abalunzi b‘enkoko bangi basanga obuzibu mukuza obukoko obuto.

Mukulizo ly‘obukoko usaana okuteekamu ebbugumu erimala okuyamba kubukoko okula obulungi. Osobola okozesa essigiri etaleeta muka n‘owa obukoko ebbugumu erimala mukulizo. Esigiri erina okukumiwa wabweeru w‘ekiyumba kubanga omuka guyisa bubi obukoko obuto wamu nokutataganya munkula yaabwo.

Endabirra y‘obukoko

Mukulizo ly‘obukoko ekifo obukoko w‘ebuliira wamu n‘okunyweera byamugaso nnyo kubanga kino kikendeeza enkoko okwesindika ennyo mukulya n‘okunywa kuba kiyinza okuziviirako okufa. Kyamugaso nnyo okuteeka obukoko 50 kubuli kinyweerwamu wamu n‘enkoko weziriira.

Kebera ebbugumu mukiyumba kyobukoko nga okozesa akapima ebbugumu (thermometer) oba nga wekenenya bulungi eneeyisa y‘obukoko mukiyumba. Obukoko bw‘ebubeera nga buwulira empewo bw‘ekunganya kunsonda emu ey‘ekiyumba okusobola okweewa ebbugumu. Ate bwebubeera nga buwulira ebbugumu bubeera bwasamye era nga kitataganya munkula kubanga tebuzimba bulungi mubiri. Singa okozesa akapima ebbuguu ( thermometer) erina okuwanikibwa mukiyumba nga kaleebetera wansi ddala kumpi n‘obukoko.

Mkiseera ng‘okeera ebbugumu mukiyumba ky‘enkoko kakasa nga ebbugumu mukiyumba kino terisuka diguli bbiri kubanga kino kiviirako obukoko okugwaamu amazzi mumubiri olwo nebutawanyizibwa mukulumya kalibwe obulungi.

Obukoko buwe ekitangaala ekimala wamu nokukakasa ng‘ekiyumba kiyisa bulungi empewo kisobozese obukoko okukula obulungi.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:55Ekifo obukoko w‘ebunyweera wamu n‘okuliira kikulu nnyo munkuza y‘obukoko.
00:5604:25Akapima ebbugumu (thermometer) ne neyisa y‘obukoko bisobola okweyambisibwa okupima enkukakyuka y‘ebbugumu mukiyumba
04:2605:05Kakasa ng‘ebbugumu terikyukakyuka kusuka degree 2 mukiyumba obukoko mwebukumirwa
05:0605:50Okukuza obukoko kiyamba okuwa obukoko ebbugumu erimala okula obulungi.
05:5106:59Obukoko buwe ebbugumu erimala nga weyambisa esigiri.
07:0008:34Mukiyumba ky‘obukoko tekamu ekitangaala ekimala.
08:3510:13Kakasa nga ekiyumba ky‘obukoko obuto kiyisa empewo bulungi.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *