Engeri endala esinga obulungi eyongeza okubiika kw’amaggi-Moringa

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=f7EstCIYt5s

Ebbanga: 

07:03:00

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2023

Ensibuko / Omuwandiisi: 

Agribusiness Insider
Moringa ngeri ndala ey’obutonde eyamba ku kwongeza ku bulamu bw’enkoko,okulongoosa omutindo gw’amaggi ekiviirako okwongera ku nsiimbi eziva mu faamu.Mukwongerako, moringa era alimu ekirungo ekigumya amagumba,ekiriisa kya iron n’ekya magnesium ebyetaagibwa ennyo okugattwa mu biriisa by’enkoko bye zetaaga.Mukugattako,moringa era alimu ekirungo kya vitamin c ekikendeeza ku kabiriro ne vitamin A eyongeza omutindo gw’amaggi.

Emigaso gya moringa

Moringa ayongera ku kubiika kw’amaggi n’obulamu bw’enkoko olw’ebirungo byalimu.Mukwongerako,molinga atumbula omutindo gw’amaggi nga ayongera  ku buggumu bw’ekisusunku ky’eggi  eritondebwa,ekyongera ku obuzitto bwalyo awamu n’okutumbula langi y’enjjuba yalyo .Mukugattako,moringa atumbula okwaluza kw’amaggi ,atumbula ku busobozi bw’enkoko okulwanyisa obulwadde era ayamba enkoko ezibiika okugumira ekabiriro eriva ku bbugumu nga agyamu ebiyinza okukosa obutafaali mu mubiri gw’enkoko.
Enteekateeka y’ensaano ya moringa
Tandiika nakulonda bikoola ebiri ku mutindo,oluvannyuma birongoose bulungi era obikazze ng’okozesa empewo mu kisiikirize okusobola okwewala okufiiirwwa ebirungo.Mu kwongerako, ebikola webikala nga bikalubye,bisekule bifuuke ensaano.Olumala,emmere y’enkoko gigatte mu ekipimo kya 5% eky’ensaano ya moringa.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:19Engeri endala ekozesebwa mu kw'ongeza okubiika kw'amaggi erina okuba nga eyongeza ku bungi bw'amaggi,n'obulamu bw'enkoko.
01:2001:44Moringa alimu ekiriisa ekizimba omubiri ekisobola okubwa obulungi mu lubutto,olwo nekyongeza ku bulamu bw'enkoko n'okubiika,
01:4502:10Moringa alimu ekirungo ekigumya amagumba,n'ekya magnesium ebyetaagibwa okugatibwa mu mmere y'enkoko
02:1102:29Alimu ekirungo kya vitamin c ekiziyiza ekabiriro ne vitamin A elongoosa omutindo gw'amaaggi
02:3003:21Emigaso gya moringa,eyongeza ku maggi agabiikibwa olw'ebirungo byalimu.
03:2204:03Era etumbula omutindo gw'amaggi ng'ayamba ku kutonda eggi eggumu,ekyongera ku buzitto bw'amaggi n'okutumbula langi y'enjuba y'eggi.
04:0405:22Ayanguuya ku kwaluza kw'amaggi,era n'okutumbula obusobozi bw'enkoko obutaakwatibwa bulwadde
05:2305:53Moringa era ayamba enkoko z'amaggi okuggumira ekabiriro eriva ku bbugumu ng'aggyaawo ebyonoona obutafaali mu mubiri gw'enkoko.
05:5406:08Omutendera gw'okweteekateeka:Londa ebikoola ebirungi,birongoose bulungi era obikaze wansi w'ekisikirize ng'ozesa empewo.
06:0907:03Sekula ekikoola ebikaze,olumala emmere y'enkoko gigattemu ensaano ya moringa.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *