Obulunzi bw‘amata kyekimu ku byobulunzi ekireeta amagoba amangi. Wabula, ensolo zikosebwa nnyo endwadde mukiseera kyokuzilunda.
Endwadde ezimanyikibwa ennyo mulimu ebbanyi, black quarter,kalusu, hemorrhagic septicemia, brucellosis, omusujja gw‘amata nebirala. Okujjanjaba ensolo nga okozesa omusawo we bisolo kiziyiza ku kusasanya obulwadde ku faamu.
Endwadde z‘ebisolo
Nga ebbanyi bweriva ku kukama amata negataggwa mu kibbere, obuwuka obutono bukwata ekibbere n‘enywanto ekivaako okusalika ku nte ezikamibwa era obubonero olabira ku kibbere kukoga, omusujja omungi, amata agalimu ebitole n‘omusaayi okuva mu kibbere era emisuwa ky‘ekibbere giyinza okufuuka emiddugavu wamu nokuvunda bweziba tezijjanjabidwa mu budde. Ebbanyi lijjanjabe nga okuuma ekiralo nga kiyonjo era nga kikalu era okame amata gagwemu bulungi.
Kalusu bulwadde obutambulira mu mpewo nga bukwata obuggato bw‘ente era nga obubonero mulimu omusujja, amata okukendeera, ente okuyiika amalusu nga wayise enaku 2, emisuwa okulabika mu kamwa, ebiwundu mu bugere n‘a,mata okwesala ebintu 30-50 ku 100. Obulwadde butambuzibwa amalusu, amazzi agava mu mubiri, amata n‘empewo. Wabula, tewali ddagala okugyako ezitalaga bubonero nga zirina emikisa 2 ku 100 bwoba okooze soda afuumba nosa ku biwundu,okuteeka omubisi gw‘enjuki mu kamwa, oyilo wa niimu okumusa ku biwundu okwewala envunyu n‘ekisembayo okugemesa ensolo enamu emirundi ebbiri mu mwaka.
Okugatako okwerumika (Haemorraghic septicemia) bulwadde bwa mawugwe nga buletebwa buwuka bu bacteria nga buyita mu mere ekyaffu n‘amazzi era ensolo ezibufunye zirekera okulya, okunywa zikalubirizibwa okussa, omusujja omungi, okuyiika amalusu era eyinza okufa bwebusuuka. Ezilwadde zijjanjabirewo era ogeme zonna omundi gumu mumwaka.
Okuddugala emabega (Black quarter) bukwata ensolo ezikaddiye nga obuwuka buyita mu mere enkyafu n‘ebiwundu era obubonero mulimu omusujja omungi, okulemerwa okulya, okuwenyera wamu nokuzimba emisuwa. Ensolo zijjanjabirewo era ozigeme zonna.
Okwingerako, omusujja gwa bulusella (brucellosis) bwebulwadde obulala obuletebwa bacteria nga gukwata ensolo n‘abantu era obubonero mulimu okuzaala abaana abafudde wamu n‘embuto okuvaamu, Ensolo zijjanjabe nga oyawula endwadde ku namu, ezifudde oziziike mu binya ebiwanvu era ogeme ensolo omulundi gumu mu mwaka.
Omusujja g‘womumata (Milk fever) bulemu obulala obukosa ensolo mu sawa 72 nga zakamala okuzaala nga kiva ku Calcium okuggwa mu mubiri olwa‘amata. Obubonero mulimu okuteeka olulimi wabweru, okutagala, okusamba emabega nokuzirika. Yita omusawo mangu ddala azijjanjabe era oziwe emere erimu ebirungo byona, tozikamira ddala era oziwe obuwunga bwa Calcium nga zakamala okuzaala omulundi gumu buli sawa 12.