Endiisa y’enjuki n’endabirira yazzo mu biseera by’obunnyogovu

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=f8bDzD-aXj4&t=201s

Ebbanga: 

00:13:58

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2016

Ensibuko / Omuwandiisi: 

University of Guelph Honey Bee Research Centre
Obumu ku bukoddyo obwomugaso okuva eri Paul Kelly,Omunonnyereza n’akulira okulabirira ebifo awalundibwa enjuki,ne David Stotesbury amyuka okunonnyereza n’okulabirira ebifo awalundirwa enjuki.

Enjuki zimannyiddwa  nti zenonnyeza emmere yazo naye mu mbeera mbi , zeetaga okulisibwa okusobola okwewala zzo okutataagannya obutonde nga ziva wezirundibwa.

Mubunnyogovu obususe , tusooka ku zirisa nga tugyemu omubisi ng’obunyogovu tebunatandiika. kino kiwa enjuki obudde obumala okukyusa sukaali okumuza mu gulukosi enjuki gwezikozesa  mu bunyogovu. Enjuki ziweebwa  amazzi agatabuddwa mu sukaali mu kigero kya 2:1 n’ebitundu bibiri ebya sukaali kubuli kitudu kimu eky’amazzi . Bwoba tosobola kutabula mu kipimo ekyo, tabula sukaali n’amazzi nga bikwafu nga bw’osobola.
Engeri gye baliisa mu enjuki.
Emu ku ngeri y’okuliisaamu enjuki kwe ku kozesa ekiriirwamu ekikoleddwa mu kibaawo.Era osobola okussa akatimba mu kiriirwa mu eky’embaawo okusobola okuziziyiza enjuki okuffa .
Engeri endala kwe kukozesa akalobo nga wetaaga ekisanikira  ky’okumuzinga ezy’omunda  nga kirimu ekituli.  Jjuza akalobo akalina ekituli n’ekirungo kya sukaali n’amazzi mu kasanikila  obikyuse wagulu w’omuzinga okakkase nti ekituli mu kisanikila ky’akalobo kikwatagana n’ekituli ekiri mu muzinga .Ekirungo kitonya mpola nga bwe gulemera mu kiffo ekikalu..Osobola okuteeka abokisi akakalu  okwetoloola akalobo olumala  sanikila ng’okozesa omumwa gw’omuzinga.
Tusobola era okozesa enkola y’okuliisa enjuki nga tukozesa omuzinga oguwanikiddwa waggulu. Gunno gukolebwa mu bokkisi ekoleddwa mu mbaawo ng’ezimbiddwa mu akakubo mu makati okukiriza enjuki okuyitawo okugenda awaterekebwa ekirungo kya sukaali n’amazzi. .Osobola okuteeka oluseke awali ekirungo okwewala enjuki okugwamu .
Enkola esembayo gye tukola eyitibwa barrel wanno tukozesa ekipimo kya gallon barrel  45 ekya sukaali nga atabuddwa mu amazzi nga era olekayo akabanga katono waggulu.Akaseke akalegeya katekebwa mu bbanga elyo erisigadde yo n’akasanikira kayimusibwa mu katono n’akaggo okuva wansi wakasanikira. Ebbanga wakati w’omukebe yo n’akasanikira liyamba enjuki okufuna ekilungo kya sukaali ate ekisanikila kiremesa enkuba okusaanula ekiluno kya sukaali ekiyinza okireetera okukaatuuka.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:55Enjuki zisobola okulisibwaku kigero kya kipimo 2:1 eky'ekirungo kya sukaali n'amazzi
01:5602:35Enkola emu ekozesebwa okuliisa enjuki kwe kukozesa ebiriibwa mu ebikolebwa mu lubaawo.
02:3603:53Enjuki zisobola okulisibwa nga okozesa akalobo.
03:5405:50Omuzinga gw'enjjuki oguwanikibwa waggulu,ogukolebwa mu bokisi ey'ebibaawo nga mu makati bazimbye wo omuwatwa enjuki mweziyita akakoledwa mu bokisi y'embaawo nga kazimbiddwa mu makati kasobola nako okozesebwa mu kulisa enjukii.
05:5107:49Enkolla esembayo tweyambisa emikebe eminnene ,wanno tukozesa ekipimo kya 45 gallon barrel eky'ekirungo kya sukaali n'amazzi ekiweebwa enjuki.
07:5013:50Okutegekera enjuki embeera y'bunyogovu
13:5113:58Okufundikila

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *