Mu bizinensi y’okulunda enkoko emmere kye ky’okuteekamu ekisinga obukulu era etwala ekitundu ky’embalirira ekisinga obunene.
Bwoba olunda enkoko ezeetaaya, osobola okukendeeza ku ssente ezikozesebwa ku mmere ng’oliisa enkoko ebyokulya ebirala. Ebyokulya ebirala bisobola okutegekebwa ng’otemaatema ebikuta bya lumonde mu butundutundu omutono enkoko zisobole okubirya amangu. Bwoba otemaatema, ggyamu obutungulu n’ebintu bya pulasitiika ebirala kubanga bya butwa eri enkoko.
Okugaba ebyokulya ebirala
Okugaba ebyokulya ebirala, teeka obutundutundu bw’emmere entemeeteme mu biriirwamu. Teeka emmere entemeeteme kyenkanyi mu biriirwamu.
Waggulu w’emmere entemeeteme oba endala, yiwako ku mmere engule. Kino kireetera emmere okubeera nga esikiriza enkoko olwo enkoko ne zaanguyizibwa okugirya.
Oluvannyuma lw’okutegeka emmere endala, gigabire enkoko.