»Endabirira y‘obumyu obuli eggwako obw‘akazaala n‘obumyu obuto.«

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=2qohs7As9Hg

Ebbanga: 

00:03:31

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2017

Ensibuko / Omuwandiisi: 

AgVid
»Download FarmTV app to watch programs of Shramajeevi TV«

Obumyu buzaalira wakati w‘ennaku 29 ku 32 era n‘ebuzaala obwana nga 5 oba 10 buli mulundi. Obumyu buzibula amaaso mu nnaku 8 ku 10 olwo n‘ebugejjera wakati w‘emyezi 3 ku 4 era buba butuuse okutundibwa.

Nga oyita mu kulabirira obulungi obumyu obuli eggwako n‘obw‘akazaala mpozzi n‘obuto kiyamba okwongeza amagoba n‘emmere eri abalimisinga oba ogoberedde gino emitendera;

Teekawo olusaniya olutono nga luwewevu okugeza ekutiya okusobozesa obumyu okufuna ebbugumu era liisa obumyu n‘ekirungo ekiggumya amagumba ekya Ostro n‘omuddo ogututumuse ebiyamba obumyu okukula obulungi.

Okufaayo n‘okulabirira

Fuba nnyo okubuwa amazzi amayonjo n‘emmere erimu ebirungo oluvanyuma lw‘okuzaala era okakase oba akamyu akazadde kaliisiza obwana bwako nga okebeera olubuto olwo oteeke akamyu kano akazadde ku ttaka oliise obumyu obuto oba buliisa emirundi essatu olunaku.

Ekirala liisa akamyu akazadde emmere erimu ebirungo emirundi ebiri olunaku okwongera ku bungi bwa mata n‘okukakasa nti obumyu obuto bukula bulungi kyokka ate ekirala teeka obwana buno mu kibokisi omuli ebikutiya nga mulimu ettaala mu budde bw‘empewo kuba obumyu obuli wakati wa ebitundu 15-20 ku buli kikumi bufa obunyogovu.

Yawula obwana buno okwanguyiza okuliisa. Era osobola okwongeramu 1ml eya mazzi nga ogenda kuwa obwana buno bw‘ebuba nga butono,ejjiko emu ey‘ekirungo kya vitamini ow‘obuwunga mu liita 5 ez‘amazzi okukendeeza ku bizibu ebiyinza okulumba enzisa y‘obumyu n‘okubuddukanya.s

Mu kumaliriza,obumyu buwe amazzi amayonjo n‘omuddo gw‘ensekeseke era obuteeke mu biyumba eby‘enjawulo mwebusobola okulira amangu n‘okwewala obulwadde.

Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0000:21Obumyu buzaalira wakati w‘ennaku 29 ku 32 nga tebunazaala bwetegekera webunazaalira.
00:2200:41Teekawo olusaniya oluwewevu era oliise obumyu emmere erimu ekirungi ekigumya amagumba ekya Ostro n‘omuddo gw‘ensekese.
00:4200:56Buwe amazzi agatukula n‘emmere erimu ebirungo oluvanyuma lw‘okuzaala.
00:5701:35Kakasa nti akamyu akazadde kaliisiza obwana oba nedda kateeke ku ttaka emirundi essatu olunaku olwo oliise obwana.
01:3602:00Liisa akamyu akalina eggwako n‘akazadde emmere erimu ekiriisa n‘omudu gw‘ensekese emirundi ebiri olunaku.
02:0102:23Teeka obwana mu bokisi omuli ekutiya era oteekemu ettaala mu budde bw‘obunyogovu.
02:2402:44Yawula obwana bwebuba nga bungi . Obwana bulaabira mu nnaku 8 ku 10.
02:4502:56Teeka emmere emala n‘omuddo mu kayumba ka kamyu akazadde n‘amazzi aga 1ml mu kinywero kya kamyu akato.
02:5703:12Oluvanyuma lw‘omwezi yawula obumyu obuto okuva ku maama wabwo. Teeka egiiko emu ey‘ekiruno kya vitamini mu liita za mazzi ttaano awo oliise n‘obumyu.
03:1303:31Buwe amazzi amayonjo n‘omuddo gw‘ensekese era obukyuse n‘ebiyumba.

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *