Singa oba oyagala ensolo zo ku faamu okweyongera, okuzaala kulina okuba okulungi.
Okuzaala okulungi kiyinza okutegeeza obusoboozi bw’ensolo okuwaka, n’okuzaala akaana oluvanyuma lw’ebbanga ng’eri ggwako. Mu budde ng’ente ziri ggwako, zirina okugemebwa n’okuweebwa ekirungo ekirimu ebiriisa okuzisobozesa okufuna amata akayana gekatandikirako okuyonka. Buli mulimi alina okuba n’ekirubirirwa kya kayana kamu buli mwaka.
Endabirira y’ente
Waliwo ebintu omulunzi byalina okuteeka mu nkola nga alabirira ente okusobola okufunamu omuli; okugema. Olina okuba ne pulogulamu y’okugema ennungi ey’endwadde ezimanyikiddwa n’ezetaaga okugemebwa mu kitundu kyo.
Pulogulamu y’okunyika nayo nkulu nnyo mu kuziyiza enkwa ez’akaseera oba nga kyetaagisa okugema n’okumanya enkola egenda okweyambisibwa ku faamu yo eyinza okuba ey’okuyiwa obuyiyi, okukuba empiso, okunyika ente mu ddagala oba okuzifuuyira .
Nga bwekiri nti olina okukuuma obulamu , olina era okwekennenya endya, ekifo n’obukuumi bwazo.
Okutereka ebiwandiiko
Kikulu nnyo okukuuma ebiwandiiko ku faamu. Muno mulimu okukola embalirira, enteekateeka y’omwaka n’obudde bw’okugema. Embaliria erina okuba n’ebbeeyi kwogemera buli mutwe oba ebbeeyi ya buli muwendo gw’ensolo