Endabirira y’emmotoka ezirima n’enkozesa yaazo Ekitundu 1

0 / 5. 0

Ensibuko:

https://www.youtube.com/watch?v=VG_tptCT9-o

Ebbanga: 

00:04:08

Omwaka gwe yafulumizibwa: 

2018

Ensibuko / Omuwandiisi: 

CEAT Speciality Tires USA
Okulabirira emipiira leero kikuyamba mu dda. Okulabirira obulungi empiira n'enkozesa kya nkizo mu kukuuma enteekateeka zo nga zigenda mu maaso.

Olw’okuba ebyeyambisibwa n’ebikozesebwa ebyanguya emirimu ku faamu, embeera y’emipiira esinziirwako okumanya obudde bw’okulimiramu emirimu, omutindo gw’emirimu n’okukola kw’emmotoka okulungi ku mulimu ogukolebwa.

Olw’ensonga nti omukka omutono gukeendeeza amaanyi, okukozesa amafuta amangi, okukosa emipiira ate era omukka omungi gubuza emirembe mu kukozesa emmotoka, okunyeenya n’okuwuuma, kebera omukka gw’emipiira mu buli lukozesa.
Endabirira y’emmotoka ezirima.
Ekisooka kozesa amaaso okukebera emipiira buli lw’okozesa emmotoka era oddemu okebere emipiira buli ssaawa 25-50 mu kukola era emmotoka bw’ebeera empya oba ng’emipiira gikyusiddwa, kebera buli kadde. Kebera enjatika oba emisale egiva ku misumaali n’ekikula kyagyo oba n’entegeka y’ebyuma mu maaso g’emmotoka erima ey’emipiira ena.
Okufaananako, vuga emmotoka ogigezese era beera bulindaala ku mbeera zonna ezitali za bulijjo era ekisembayo kuuma omukka omutuufu mu mipiira okusinziira ku kikoleddwa.
Okugoberegana okuva ku Okugoberegana okutuuka ku Ekinnyonnyola
00:0001:15kebera omukka gw'emipiira mu buli lukozesa.
01:1601:39kozesa amaaso okukebera emipiira buli lw'okozesa emmotoka
01:4001:59ddamu okebere emipiira buli ssaawa 25-50 mu kukola.
02:0002:43Kebera enjatika oba emisale egiva ku misumaali n'ekikula kyagyo oba n'entegeka y'ebyuma mu maaso g'emmotoka erima ey'emipiira ena.
02:4402:54vuga emmotoka ogigezese era beera bulindaala ku mbeera zonna ezitali za bulijjo.
02:5503:51 kuuma omukka omutuufu mu mipiira okusinziira ku kikoleddwa.
03:5204:08Ekifunze

Laba vidiyo ey’ebweru

Bw’onyiga ku link eno wammanga oba play button ojja kuva mu FO Video Library n’okyuka ku mukutu ogw’ebweru!

Lekawo okuteesakwo mu bumpi

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *