Endabirira y’emitti gy’ebinazi egitanakula ennungi evaamu amakungula agawera era etandikira ku kumutendera gw’okusimbuliza endokwa.
Kumutendera gunno ,ennimiro ezirimu emitti gy’ebinazi zijjuze ebirime ebigatta ekirungo kya nitrogen mu ttaka binno biyamba mu kuteeka ekirungo kya nitrogen mu ttaka n’okwewala okulukuta kw’ettaka.Olina okufaayo ennyo ng’osimbuliza ebirime okusobola okuziyiza ekikangabwa kyoyinza okufuna mu kusimbuliza.Kikubirizibwa nnyo okusimba emitti gy’ebinazi ku ttaka eryonoonese oluvannyuma ogifuuyire mu eddagala eritta omuddo era osimbe mu ebirime ebigatta ekirungo kya nitogen mu ttaka.Ttekawo amakubo ag’okuyitwamu okutuuka ku nnimiro yo wabula nga tokwata ku ttaka ery’okungulu kubanga lirimu ebirungo by’omuttaka bingi.
Ebisooka ookukolebwa
Tandika nakulonda kiffo wogenda okusimba era osooke wekebejje ettaka okusobola okumannya embeera ettaka mweriri n’okumannya ebiri mu ttaka lyo.Oluvannyuma liteekemu ebigimusa okusobola okutumbula ebirungo ebiririmu.Wabula wewale okusiimba emitti gy’ebinazi ku ttaka eririmu ebbumba n’olusennyu.Mu kugattako,tegeka olukalala lwebyogenda okola okusobola okumannya n’okozesa ettaka obulungi era mu kiseera ky’okusiimba, mannya obungi bwe byo byoba ogenda okusimba nga wesigama ku bugimu bw’ettaka.Era oteekewo ensalosalo ku kaserengetto okusobola okwewala okulukuta kw’ettaka n’okufumuka.
Enkozesa y’ebigimusa
Tandika nakuteeka kiro 50 ku 100 ez’ekirungo kya NPK wiiki emu ng’eyiseewo bika ensigo ezimeruka okusobola okwanguya ku nkula y’ekirime.Olumala tekamu ebigimusa bya nnakavundira okusobola okutumbula enkula.Okwongerako,Tteeka mu ekirungo kya NPK ne magnesium mu kiseera ky’okugya mu omuddo okusobola okwongera ku birungo.Okusembayo,ebirime byetoolooze amatabi g’ebirime agataliiko bibala okusobola okutumbula obungi bw’ebirungo.
Ebikolebwa mu kulabirira.
Woba osimba ttama ebinnya ebinnene ebiri ku bugazzi bwa 10cm mu kifaananyi eky’ensonda essatu(truangular shape),era osige ensigo y’ekirime ekyongera ekirungo kya nitrogen mu ttaka ng’ensigo zigatiddwa mu ekirungo kya rock phosphate.
Era bulijjo kozesa eddagala eritta omuddo mu myezi 20 egiba giddako era osimbulize nga endokwa n’obwegenderevu nga wozirambulira buli wiiki okusobola okumannya enkula y’ekirime.Mukusembayo ,fukirira ebirime bisobolle okukula obulungi n’okwewala ekabiriro.Era omuddo gwolimye gwetooloze ebirime kibiyamba okufuna mu bigimusa.