Ng’omuwendo gw’obugimu mu ttaka bwegulaga omutindo n’obungi bw’ebirime ebikungulwa okuva mu nnimiro,enkuuma y’ebirungo mu ttaka y’etaagibwa.
Olw’ebikka by’okulima ebiteetagisa nsimbi,omulimi teyeetaaga kusaamu sente mu bikozesebwa okusobola okufuna amakungula amalungi wabula enkola z’obulimi endala zirimu okusaasannya ekitono n’ekingi. Engeri gy’olima mu yeraga amakungula g’ofuna okuva mu nnimiro.
Okukuuma obugimu bw’ettaka
Okusookera ddala mu kukuuma ebirungo ,ebirime bibifuna okuva mu mpewo,amazzi n’etttaka era ebirungo ebyetaagibwa mulimu ebiva mu buwuka obusirikitu nga muno mulimu NPK,Ca,Mg ne sulphur ne ebiyitibwa n’ebiva mu biwuka okuli Fe,Mn,B,Zn,Cu,Mo ne Cl.
Mu kufundikira,enkuuma y’ebiriisa yamugaso nnyo mu kulabirira ebirime.