Eby’ennyanja bisobola okulundibwa mu biddiba, amapipa, mu butimba. Eby’ennyanja ebiseera ebisinga bitwala wiiki bbiri okumanyira embeera z’obutonde ate ebirwadde n’ebitali mu mbeera nnungi biggyibwamu n’ebiggalirwa awantu okumala wiiki 2 ku 3.
Okukuuma faamu ennungi ey’eby’ennyanja okubiggalira awantu kyetaagisa nnyo. Okuggalira eby’ennyanja ku faamu kizingiramu okwawula eby’ennyanja ebirwadde, ebisuubirwa okuba ebirwadde okusobola okuziyiza endwadde n’olwekyo okukozesa obwangu okulaba obubonero bw’ennyanja ebirwadde kiyamba okukendeeza ku kufirizibwa, emirundi egisinga eby’ennyanja ebirwadde bibeera binafu mu kuwuga ate biba birya kitono.
Endabirira ennungi ey’eby’ennyanja ebiggaliddwa
Kakasa nti okebera buli kiseera eby’ennyanja era obifeeko nnyo. Kino kikuyamba okumanya eby’ennyanja ebirwadde n’okufuna eky’okubikolera amangu ddala.Okwongerezaako eby’ennyanja ebiggaliddwa birina okufibwakwo ennyo bisobole okuwona amangu. Bulijjo yawula ekidiba ekirimu eby’eby’ennyanja ebiggaliddwa kw’ekyo ekirimu eby’ennyanja bireme okwetabula.
Eby’okwewala mu nkola y’okuziyizaamu ebireeta obulwadde ku faamu
Okusooka, teeka faamu y’eby’ennyanja mu kifo ekirimu faamu y’eby’ennyanja ebitono oba ekitalimu , era faamu erina okubeera mu kitundu ekirimu abantu abatono kuba ekirimu abantu abangi kikendeeza kubusoobozi bw’eby’ennyanja okulwanyisa endwadde. Okwongerezaako manya endwadde ez’enjawulo eziri mu kitundu osobole okunoonya engeri gy’onaziyizaamu endwadde. Kakasa nti buli kiseera okuuma omutindo gw’amazzi agali mu kidiba nga mayonjo okusobola okuziyiza ekkabiro n’okukwatibwa kw’endwadde.
Okwongerezaako, toteeka by’ennyanja ebirina ebbanga ery’enjawulo mu kifo kimu kikusobozese okumanya obulungi ebbugumu eriri mu mazzi n’okutegeera ebitonde eby’enjawulo ebiri ku faamu kikuyambe n’okuziyiza obuwuka obw’obulabe n’endwadde ezisaasaana amangu. Era kakasa nti otereka bulungi emmere y’eby’ennyanja okusobola okutangira ekirwadde ekikambwe ekya fungus
Bulijjo kakasa nti omanya ekika ky’emmere eretebwa ku faamu abantu abalala olw’ensonga nti emmere emu eyinza okubaamu obuwuka obuyinza okusaasaana endwadde mu by’ennyanja era kakasa nti osuula bulungi eby’ennyanja ebifudde byoggye mu kidiba amangu ddala mu kifo ekituufu okuziyiza okusiigibwa kw’endwadde.