Okulabirial obusakativu bw‘ebikoola ku miti kyongera ku makungula g‘emwanyi. Kino kokolebwa nga oweeta amatabi, okugisalira (okugyamu obuwakatirwa), wamu n‘okutema amatabi agamu nokuza obujja enimiro.
Bwetuba tusalira emiti, amaanyi tugateeka ku bitundu ebimu olwo omuti negukula nga mulamu neguvaako amakungula agawera nga n‘omutindo guli waggulu era kino kikolebwa omulundi gumu mu mwaka. Okusalira kuleetera empeke okugejja era kiyamba nokunoga emwanyi nga zengede bulungi bwoba okungula. Okusalira kuyamba nokulwanyisa ebiwuka n‘endwadde , kyongera ku ngeri emwanyi gyezikubamu ekimuli kuba kireteera omusana n‘empewo okutuuka obulungi ku muti, era kiyamba omuwendo g‘webikoola omutuufu ogusanide okubeera ku muti kwosa nokukekereza amazzi mu kimera.
Ebikolebwa ebirala
Okuza obugya enimiro kiyinza okutandika oluvanyuma lw‘emyaka 6 oba 7 nga omazze okusimba kubanga mu kiseera kino, emwanyi ziba tezikyavaako nnyo makungula naye kino kitekebwatekebwa emyaka ebbiri emabega nga tonagyamu enkadde. Kino kikolebwa nga otema amatabi gona nosigaza kikong, kino kiretera endala okusibuka. Ezisibuse bweziweza obuwanvu bwa 45cm, temako ezimu osigazeeko 4-5 nga zeyawudde bulungi era nga enkuba enetera okutonya, londako 2 zolekako endala ozigyeko.
Temako omuti omukulu ogwasookako buli mwaaka nga owunzika ejjambiya ku diguli 45 nga oda waggulu.
Enkonge enyonjo nazo zisobolaokukolebwa webatemako emitwe gyona omulundi gumu nebalekako wezisibukira woka. Amatabi gasibuka mangu ate kumu. Kino kikolebwa mu bitundutundu bya nimiro obutafirwa makungula omulundi gumu.
Okulabirira obusakativu bw‘emiti kyongeza ku benene bw‘empeke y‘emwanyi, omutindo gw‘ekirime era nokwongera ku sente eziyingizibwa okuva mu kulima emwanyi.